'Abaserikale ba KCCA banziggyako emitwalo 40 kyokka omulamuzi n’ansiba emyezi 2'

By Benadino Kate

Ro binah Namugenyi ow’e Kisaasi yava awaka n’ajja mu kibuga okulejjesa ebintu bye wabula kw’olwo abaserikale ba KCCA ne bamuyoola n’abalaajanira okumusonyiwa ne bamusaba 400,000/- bamuyambe.

Kola1 350x210

Ro binah Namugenyi ow’e Kisaasi yava awaka n’ajja mu kibuga okulejjesa ebintu bye wabula kw’olwo abaserikale ba KCCA ne bamuyoola n’abalaajanira okumusonyiwa ne bamusaba 400,000/- bamuyambe.

Yazze mu ofiisi za Bukedde n’ategeeza nti, baamugamba bagenda kumusonyiyira ku City Hall era bwe baatuuka eyo ne bamugamba nti, waakusimbibwa mu maaso g’omulamuzi kyokka bwe bamusomera omusango agukkirize bagenda kumuyimbula kasita yawaddeyo ne ssente.

Ng’ali mu nnyiike yagambye nti, yagendera ku kuwabula kwe baamuwa wabula katono agwewo ekigwo omulamuzi bwe yamusindika e Luzira amaleyo emyezi ebiri era bino byaliwo nga October 20, 2016 era yavuddeyo nga December 20, 2016.

Ebintu bye baabowa byalugenda ate ne ssente ne zirugenda. Ayagala anaamuyamba addemu okukola kyokka yaweze tadda mu Kampala. Ali ku ssimu nnamba 0773-988880.