Eggwanika lya KCCA temuli ssente!

By Hannington Nkalubo

EGGWANIKA lya KCCA liweddemu ssente Jennifer Musisi Ssemakula n’awandiikira minisita Beti Namisango Kamya amutaase.

Luk2703469 350x210

EGGWANIKA lya KCCA liweddemu ssente Jennifer Musisi Ssemakula n’awandiikira minisita Beti Namisango Kamya amutaase.

Ekitongole kya UMEME kitegeka kubasalako masannyalaze ku nguudo ate n’abakozi tebakyalina ze babasasuza wadde ssente eziyoola kasasiro mu kibuga!

Ebbaluwa etabudde Loodi meeya, Erias Lukwago n’ayita bukubirire bameeya ba munisipaali za Kampala bateese ku ngeri ssente gye zibadde zikozesebwamu era ayise n’olukiiko lwa bakansala babannyonnyole ku nkozesa ya ssente mu kitongole.

Mu bbaluwa ya Jeniffer Musisi Ssemakula, ataddemu ebintu bye batakyasobola kukola mu Kampala ne ssente ezibabanjibwa ng’agamba nti ssinga Gavumenti tebayamba, ekibuga kigenda kuddayo mu mbeera y’ebinnya n’okuwunya nga bwe kyali ku mulembe gwa bameeya abaavaako.

AMATAALA G’OKU NGUUDO;

Olwa ssente ezitakyava mu misolo egy’enjawulo mu Kampala ssaako Gavumenti obutabawa ssente mu budde, UMEME ebabanja obukadde 739 era yabalabudde dda nti etegeka kubasalako masannyalaze ku kitebe kya KCCA n’amataala g’oku nguudo.

KASASIRO;

Yategeezezza nti ssente eziddaabiriza mmotoka za KCCA, ezirabirira ekifo kya Kiteezi awayiibwa kasasiro ssaako abakozi abayonja ekibuga tebakyasobola kubasasula. Ekiseera kino babanjibwa obukadde 537 era nti abakozi bategeka kussa wansi bikozesebwa!

ABASERIKALE BA KCCA ABAKUUMA EKIBUGA;

Jennifer Musisi yategeezezza nti abaserikale b’ekitongole n’ebitongole byonna ebikuuma ekibuga bitwala obukadde 220 buli mwezi. Embeera ya Kampala ekiseera kino ebatadde ku bunkenke era ssente ezibasasula ekiseera kino tebazirina kubanga emisolo gye babadde bakuh− haanya n’ensimbi eziva mu Gavumenti tebakyazifuna.

PULOJEKITI Y’EGGAALI Y’OMUKKA;

Ekiseera kyonna entambula y’eggaali y’omukka ey’olukale egenda kuyimirira kubanga Gavumenti yasuubiza KCCA okugiwa ssente akawumbi kamu kayambeko ku kkampuni okusaabaza abantu kyokka ssente ze bafuna ziri obukadde 500 zokka.

Yagambye nti abasaabaze naddala abava mu bitundu by’e Jinja babadde bakozesa nnyo eggaali eno kyokka ssente ze babadde bongereza ku kkampuni ya Uganda Railways Cooperation (URC) tebazirina.

EBINTU BYE BAKOZESA MU KITONGOLE;

Amafuta, emisaala, ebitabo n’empapula ssaako emisomo n’ehhendo ez’ebweru tebakyasobola kubigendamu ate nga Gavumenti ebadde ebifunamu nnyo.

Loodi meeya Erias Lukwago ategeezezza nti kyennyamiza kubanga ebintu ng’enguudo, emisaala n’emirimu mu kibuga tegisobola kuyimirira.

LUKWAGO AYOGEDDE;

Loodi meeya, Erias Lukwaago asomedde bameeya ba munisipaali ebbaluwa eno n’okubategeeza okusoomoozebwa okuliwo mu bya ssente ne bategeeza nti bateekwa okuweebwa lipooti ku ngeri ssente gye zibadde zikozesebwa.

Bameeya balaze okutya nti ne ssente ezaasuubizibwa okuweebwa ekitongole nga ziva mu bbanka y’ensi yonna ziyinza obutaweerezebwa olw’omusingo gwe bateekeddwa okusasula ssaako n’ensimbi ezigenda okuliyirira abantu we bagenda okukola enguudo ezitaliiwo.

Meeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi ategeezezza nti bagenda kusala amagezi okulaba nga ssente bazifuna era baagala minisita Beti Kamya akole ku by’ebbula lya ssente eririwo mu kitongole.

Ebbaluwa ya Jennifer eyimirizza okusasula ssente ezaasigala ku katale ka USAFI, okusasula eyali omumyuka wa Loodi meeya, Sulaiman Kidandala Sserwadda obukadde 535.

Bayimirizza okusasula liizi ya Buganda Land Board obukadde 877 ku ttaka ly’amasomero okuli erya Namungoona, Kitebi ne Busega.

Olwa ssente okukendeera mu Kampala, ebikozesebwa ku nkola ya NAADS bikendedde kubanga ssente obukadde 980 tebazirina kuyamba ku Bannakampala okwekulaakulanya!