Ab'omu Ndeeba bazudde emmundu mu mwala ne basattira

By Vivien Nakitende

ABATUUZE mu Zooni ya Mutebi mu Ndeeba bazudde emmundu ng’esuuliddwa mu mwala.

Pala1 350x210

Akiram Ssonko 13, eyakedde okusena amazzi, ag’okunaaba ye yasanze ekintu ky’ataasoose kutegeera nti mmundu wabula bwe yakisiseeyo okwetegereza nga mmundu yennyini.

Ssonko yagambye nti yayanguye okutegeeza jjajjaawe Kiggundu naye eyabuulidde ab’akakiiko k’ekyalo, ne bayita poliisi y’omu Ndeeba eyazze n’egiggyawo.

Mansoor Kasule, akulira ebyokwerinda mu Zooni eno yagambye nti mu Ndeeba tebabadde na babbi babbisa mmundu era yeewuunyizza abaakwese emmundu eno mu kitundu kyabwe.

N’agamba nti ekyewuunyisa emmundu teyabaddemu masasi nga kirabika abaagikwese baasoose kuggyaamu masasi oba okugakozesa.

Yasabye abeebitongole ebikuumaddembe okwongera obukuumi mu kitundu kino kuba emmundu ezuuliddwa mu kitundu kyabwe ebatiisizza.

Atwala poliisi y’omu Ndeeba, Mugira Kato yeetegeerezza emmundu n’agitwala ku poliisi gy’ekuumibwa.

Tonny Obel ow’ekitongole kya Range Protection yagenze ku poliisi y’omu Ndeeba n’ategeeza nga mukwano gwe Steven Onguzi bwe yabadde abbiddwaako emmundu y’ekika kya Pump Action Short Gun.

Poliisi bwe yakebedde emmundu eyazuuliddwa nga ye y’omukuumi eyamubbiddwaako nga kati banoonyereza okuzuula angeri gye yabbiddwa.

Obel yagambye nti Onguzi yamutuukiridde n’amutegeeza nga bwe baabadde bamubbyeeko emmundu ye era n’atya okubuulira bakama be kwe kusalawo okudduka.

Akulira bambega ku poliisi mu Ndeeba, Frank Tulyasiima yagambye nti banoonyereza okuzuula abaanyaze emmundu nga baagala kusooka kufuna nnannyini yo ababuulire ebyabaddewo.

Poliisi yagguddewo fayiro nnamba SD: 16/04/02/16, okunoonyereza ku musango guno.

Abamu ku batuuze mu Ndeeba, balumirizza abaserikale b’ebitongole ebikuumaddembe okwenyigira mu bubbi ng’emmundu zaabwe bazipangisa ababbi abatigomya abantu.

Bagamba nti omukuumi akyayinza okuba ng’amanyi abaatutte emmundu ye, ky’ava yeekwese ne basaba poliisi okuwaliriza bakama be bamuzuule.