Jennifer Musisi awandiikidde Lukwago ebbaluwa nti waliwo abamutiisatiisa okumutta

By Hannington Nkalubo

ENTALO KU City Hall zitadde dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi mu katu n’awandiikira Loodi meeya Erias Lukwago nti atambulira mu kutya kubanga waliwo abamutiisa okumukolako obulabe.

Kutta 350x210

Mu bbaluwa gye yawandiikidde Lukwago nga August 08 2017 oluvannyuma lw’okusooka okwogera naye ebiwanvu ku ssimu, yamutegeezezza nti mweraliikirivu nti waliwo abayinza okumutusaako obulabe era ebyokwerinda bye biri mu matigga.

Ebbaluwa ya Jennifer Musisi yatiisizza Loodi meeya Erias Lukwago n’agisoma yonna nga bwe yagimuwandiikidde mu lukiiko olwatudde ku Lwokuna ku City Hall era ne bakansala ne bagyewuunya nga bagamba nti omuntu alina abaserikale abakambwe lwaki atuuka mu mbeera eno.

Omu ku bakansala Kennedy Okello yategeezezza nti ebyokwerinda bya Jennifer Musisi byetaaga kwanguyira kukolako kubanga waaviiriddeyo n’atya n’okutuula mu lukiiko lwabwe wadde okwesembereza kansala yenna kiraga nti ensonga nnenne era yeetaaga kukwasibwa poliisi etandikirewo okunoonyereza.

EBIBADDEWO

Wakati mu kwebuuza,abamu baakitadde ku butakwatagana obuliwo wakati wa minisita wa Kampala Beti Kamya naye eyatuusizza (Kamya) n’okusisinkana bakansala abatuula ku nkiiko za munisipaali ne bamuvuma n’okumwogerera ebikankana nti yaalinye mu kkubo lyabwe eribadde ligenda okubongezesa omusaala.

Baategeezezza nti abamu ku bakansala abaali mu lukiiko olwatuula ewa Minisita Beti Kamya baabadde basuubira okubeerawo era abamu baabaddewo mu lukiiko luno ekyabadde kisuubirwa nti bayinza okutabukiramu nga bwe baakola ku Loodi meeya nga bateesa ku kwongeza emisaala.

Embeera eyabaddewo yawalirizza abatwala ebyokwerinda okwongera okuyiwa abaserikale ne beebulungulula City Hall yonna ng’abamu bambadde ngoye za bulijjo ate abalala bali mu yunifomu.

Bakansala ku munisipaali bonna baasindikiddwa waggulu ekkirizibwa abantu ba bulijjo okutuula era gye baalabidde byonna ebyabadde biteesebwa n’ebigenda mu maaso.

Akabonero kano kaalaze nti waliwo okwekengera okwamaanyi ku ba kansala ku monisipaali.

Bakansala abalala ensonga ya Jennifer Musisi baagitadde ku mbeera y’abateembeyi abaali balumbye City Hall nga beemulugunya olwa munnaabwe Olivia Basemera okufiira mu mwaala ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga kigambibwa nti yali ayiggibwa baserikale ba KCCA.

Ate abalala baakitadde ku bamu ku bakozi ba KCCA bennyini abagambibwa nti tebakyakwatagana ne Jennifer Musisi ng’abamu kigambibwa nti akyagaanyi okuzza obuggya endagaano zaabwe n’okubakakkasa ku mirimu ate ng’akakiiko akagaba emirimu kaabasemba dda.

OKUTYA KWA MUSISI

Jennifer Musisi yagambye nti okutya kw’alina kwaddala nti waliwo ekibinja ekyagala okumutusaako obulabe era ensonga yagitegeezezza loodi meeya Lukwago mu bbaluwa gye yamuwandiikidde.

Ebbaluwa y’ebyokwerinda yagiwandiikidde Loodi meeya Lukwago n’awaako akola ng’omumyuka we kyokka minisita Beti Kamya teyamuwaddeko kkopi.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti ensonga z’ebyokwerinda baazikwasizza poliisi era byonna ebikolako.

“Ebyokwerinda byanywezeddwa era nsuubira dayirekita waffe waali mugumu tewali kyetaagisa kutya nnyo. Ebyayogeddwa mu bbaluwa bimala” Kaujju bwe yagambye.

Akulira okutegekera ekibuga Moses Atwine gwe yatumye okumukiikirira mu lukiiko yategeezezza Loodi meeya ne bakansala nti bakansala abaabadde bateesa si beebatiisa Jennifer Musisi atuuke n’okugaana okutuula mu lukiiko.

“Ekizibu kirabika tekiri munda wano mu lukiiko wabula wabweru w’olukiiko era buli muntu ateese nga mugumu ” Atwine bwe yagambye.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasingye n’omumyuka we Emirian Kayima eggulo baabadde tebanategeera ku lipooti yonna ekwata ku kwemulugunya kwa Musisi era nti tannaba kukuweereza mu poliisi.

BAKANSALA

ABAMU ku bakansala abaabadde mu lukiiko baagambye nti tewali byakwerinda bibi biyinza kutiisa Musisi kutuula mu lukiiko nti bo kye bakakasa nti ayinza okuba ng’alina bye yabadde yeebalama okwanukula.

Kansala Ismail Ddamba (Lubaga South) yategeezezza nti Musisi ye namuziga okutambulira ebyokwerinda mu kitongole kyonna okusinga loodi meeya n’abalala bonna kati ani ayinza okumukolako obulabe?

“Kyemanyi, yagudde mu lukwe lw’ebiteeso bye twabadde tutegese atunnyonnyole. Twabadde tumwetegekedde atunnyonnyole ku nneeyisa y’abaserikale abakwasisa amateeka, ku bakozi ba KCCA abasinga abatalina bbaluwa zibakakasa ku mirimu ate nga minisitule y’abakozi yabakkiriza dda ssaako ebikolwa by’ettemu ebikolebwa abaserikale baffe,” Ddamba bwe yagambye.

Abalala baategeezezza nti Loodi meeya ne bakansala baabadde baasazeewo dda nti KCCA yakoze dda ensobi ku muteembeyi Olivia Basemera nga Jennifer Musisi ne bw’atuula mu lukiiko olwo yabadde talina ky’asobola kukyusa wadde okubannyonnyola kye yavudde alwebalama.

Loodi meeya n’olukiiko lwe baasazeewo nti ensonga y’ebyokwerinda bya Jennifer Musisi babikwate ng’ensonga ey’enjawulo kubanga kikwata ku bulamu.

Baasazeewo nti poliisi eyanguwe mangu okutunula mu mbeera eriwo okulaba nga tewali kizibu kyonna.

Embeera y’obunkeke mu KCCA ebadde yagwaawo oluvannyuma lwa Loodi meeya Lukwago okuddamu okulondebwa obupya.

Gye buvuddeko abamu baategeezza nti akolagana bulungi ne ofiisi ya Jennifer Musisi okusinga eya minisita Beti Kamya.

Jennifer Musisi kati ayogera bulungi ne Beti Kamya era amuwandiikira ebbaluwa n’amutegeeza ku ngeri ekitongole gye kikolamu emirimu era bakansala ne loodi meeya baatabuddwa okuwulira nti waliwo obunkenke mu byokwerinda bya Jennifer.

EBYASALIDDWAWO OKUKOLEBWA

  • Bakansala baayimirizza akulira ekitongole ekikwasisa amateeka Kituuma Rusoke n’abamu ku baabadde akola nabo abagambibwa okwenyigira mu kukwata obubi abasuubuzi.
  • Baasazeewo nti abaana b’omugenzi Olivia Basemera ekitongole kibalabirire kubanga abakozi baakyo be baavuddeko ekizibu.
  • Ensonga y’okuwa abakolera ku nguudo ebifo ezibwe bugya.
  • Ebyokwerinda bya dayirekita Musisi bikolebweko mangu.

  • Kkooti eyasibwa ku City Hall egambibwa nti abakolera ku nguudo mwe batulugunyizibwa bagisengulewo mu bwangu.