Paasita gwe yafeze emitwalo 40 alaajana

By Musasi wa Bukedde

Paasita gwe yafeze emitwalo 40 e Kyebando alaajana

Paka 350x210

OMUSOMESA Ambrose Ali Busit 60, owa God’s Grace Infant Nursery and P/S ow’e Kyebando alaajanidde ku poliisi oluvannyuma lw’eyeeyita paasita Charles Okello owa Destiny Church e Kawempe okumufera 400,000/-, bwe yamusaba okumuyamba amuyingize ekibiina kya Bwaise SACCO I asobole okwewolayo 1,000,000/-.

Agamba nti yali ayagala emitwalo 500,000/- n’asooka amuwa 400,000/- n’amusuubiza okumwongera emitwalo 100,000/- ng’akawunti emaze okuggulwawo oluvannyuma lwa wiiki emu.

Ambrose agamba nti Okello yatandika okumubuzaabuza kwe kugenda ku poliisi post y’omu Kibe ku Kaleerwe n’amuggulako omusango ku fayiro SD:08/27/06/2018.