Aba KCCA bakunyizza aba munisipaali y’e Kawempe lwa bucaafu

By Musasi wa Bukedde

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Kawempe ebigambo bibakalidde ku matama nga Sam Sserunkuuma amyuka Jennifer Musisi ababuuza ekivuddeko obucaafu okweyongera mu zooni ze bakulembera.

Pala 350x210

Kiddiridde abatwala eby’obuyonjo mu Kawempe okwemulugunyiza KCCA ng’obucaafu okuli kazambi ayanjaala mu bizimbe naddala ng’enkuba etonnye, kasasiro ne kaabuyonjo ezijjula abatuuze ne bamansa obubi mu buveera.

Esther Nannyunja atwala ebyobulamu agamba nti ku miruka 18 egiri mu Kawempe, 10 ku gyo okuli Makerere III, Kyebando, Kawempe I ne II, Bwaise I ne II, Wandegeya n’emirala obucaafu bwasukka era endwadde ng’ekiddukano zitadde bangi ku ndiri.

Wano Emmanuel Sserunjogi Meeya wa Kawempe w’asabidde bassentebe okusitukiramu nga bakwatagana ne bakansala baabwe wamu n’abakulembeze abalala okulwanyisa embeera eno.

Sserunkuuma olukiiko yalutuuzizza ku Tick Hotel e Kawempe n’anenya abakulembeze okwesuulirayo ogwa nnaggamba.

Yabasabye okusitukiramu batandike emisomo eri abatuuze mu buli zooni okulaba ng’ensonga eno egonjoolwa.