Mmengo esiimye Musisi

By Musasi wa Bukedde

Ab’ekitongole kya Kabaka ekivunaanyizibwa ku ttaka ekya Buganda Land Board, basiibudde abadde dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi ne bamusiima olw’okusiga enkulaakulana mu kibuga ng’ezingiramu Obwakabaka bwa Buganda naddala okukola oluguudo lwa Kabakanjagala okutudde enkulungo ‘Nnantawetwa’ n’ebirala.

Unity 350x210

Obubaka bwa Buganda Land Board obusiima Musisi bwetikkiddwa ttiimu eyakulembeddwaamu ssentebe w’olukiiko lw’ekitongole kino Ying. Martin Sseremba Kasekende ng’omulamwa kwe kumusiima olw’enkolagana ennungi gy’abadde nayo n’Obwakabaka naddala ku ngeri gy’abadde akwatamu ensonga ezikwata ku ttaka n’enkulaakulana okutwalira awamu.

Muky. Musisi yagambye nti yeenyumiriza olw’enkolagana ennungi gy’abadde nayo ne Buganda Land Board wamu n’Obwakabaka okutwalira awamu naddala ku nsonga y’ettaka nti kuba erisinga obungi mu Kampala livunaanyizibwako kitongole kino ekya Buganda Land Board.

Ying. Kasekende yabadde atudde mu ntebe y’akulira BLB mu kiseera kino Mw. Bashir Kizito, avunaanyizibwa ku nkola y’emirimu n’amawulire mu kitongole kino Mw. Simon Kabogoza, omusomesa Kizito Gambobbi, Juliet Nambiite ne Diana Rose Nayiga.