Eyanyukudde essimu mu jjaamu ku Shoprite kamera ya Poliisi emulokoomye n'akwatibwa

By Eria Luyimbazi

POLIISI erondodde n’ekwata omuvubuka ali mu kibinja ekibinja ky'abanyakula amasimu mu jjaamu mu Kampala n'agatunda.

Simu3 350x210

Esau Ndurukire abeera e Salaama ye yakwatidwa poliisi ya CPS oluvannyuma lw'okumulondoola nga bakozesa akatambi akaakwatibwa kamera ya poliisi eyassibwa ku Shoprite mu Kampala, akamulaga ng'anyakula essimu okuva ku muntu eyali mu takisi  ng'ebitaala bikutte mmotoka.

“Ababadde balowooza nti kamera za poliisi tezikola beerimba kuba omuvubuka eyanyakula essimu okuva ku muntu eyali mu takisi akwatiddwa  era n'akkiriza nti yagibba. Kamera zino zijja kuyamba okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka,” Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti okukwata Ndurukire abasirikale baamulondodde bwe yakomyewo mu kifo kye kimu  akomyewo ku Shoprite mu kifo kye kimu we yabbira essimu ekika kya Tecno C8 ku Lwomukaaga  nayogera  alina omuntu gweyagiguza mu kisenyi ku mitwalo 17 .

Owoyesigyire yategeezezza nti Ndurukire yakulembedde abasirikale n'abatwala mu Kisenyi abasirikale ne bakwata Moses Byamukama gwe yalumiriza nti gwe yaguza simuessimu enzibe ku mitwalo 17 era naye n'akkiriza nti kyokka naye oluvannyuma yagiguza abatunda simu ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero.

Ndurukire era yalonkomye ne banne abalala bwe bakola ogw'obubbi okuli; Julius, Black, Ivan, Dog Masada nga basinga kubbira ku Shoprite ne ku Clock tower naddala mu biseeera nga waliwo obulippagano bw'ebidduka.

Mu kiseera kino, Ndurukire ne Byamukama bakyakuumirwa ku poliisi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.