Kamya ayimirizza aba KCCA 10: Awadde ebiragiro ebikambwe

By Moses Kigongo

OMUSUUBUZI eyattottoledde minisita wa Kampala Beti Kamya engeri ey’ettima abaserikale ba KCCA gye bamutulugunyizzaamu nakoma ku mugo gw’entaana emuwalirizza okubayimiriza ku mirimu mbagirawo okusobola okukkakkanya emitima gy’abasuubuzi abaabadde bakulukusa amaziga mu maaso ge nga bamulaajanira okubabonereza.

Kamya1 350x210

Juma Akankwasa omu ku basuubuzi abakolera mu paaka ya takisi enkadde yawuniikirizza abakungu ba gavumenti okwabadde minisita wa Kampala ne meeya wa Kampala Central, Charles Emmanuel Sserunjogi bwe yattottodde engeri abaserikale ba KCCA abaabadde badduumirwa Jjemba (aduumira ebikwekweto by’okukwata abatembeeyi mu kibuga wakati) gye bamusazeemu ebiso, okumukuba agakonde n’ensambaggere nga bamulanga kye bayise okutembeeyeza mu kibuga wakati ekitakkirizibwa.

Yagambye nti baamuggyeeko ssente ze (emitwalo 20) wamu n’essimu gye baamusanze nayo olwo ne balyoka bamukuba ku kabangali yaabwe (eya KCCA ) ne bamutwala ku Poliisi ya CPS gye bamutuusizza ng’asigaddeko kikuba mukono.

“Simanyi oba ennaku gye mpulira ku mutima eneensobozesa okuddamu okutunula ku baserikale ba KCCA abankubye ne bankasuka ku CPS nga nsigaddeko kikuba mukono.

Kyokka ne batakoma kw’ekyo ne bagattako okunzibako essimu ne kapito wange eyandibadde annyamba okuddamu okweteteenkanya mu bulamu,” Akankwasa bwe yagasseeko ku byamutuukako bwe yakwatirwa mu paaka ng’alejjesa eddagala ly’omugongo.

Yategeezezza nti; ku CPS abaserikale babadde bamanyi nti agenda kufiirayo era kwe kumulekera aba poliisi baayo ne bamuddusa e Mulago gye bamukasuse.

Owa Red Cross ye yamuyambe n’afuna obujjanjabi obwamuzizza engulu. Baabadde bakyawuniikiridde, ate ne wavaayo Paul Kafeero eyabalaze ebifaananyi bye ng’abaserikale ba KCCA bamukuba ku kabangali okufaananako amabidde ge batikka ku loole oluvannyuma lw’okumukuba agakonde n’ensambaggere ebyamulese ng’atiirika musaayi.

Abasuubuzi abalala okwabadde Winne Nakate ne Jane Kabasinguzi baakulukusizza amaziga nga nabo battottola engeri abaserikale bano gye baabakuttemu bwe baabambuddemu sikaati n’okubayuliza obuwale bw’omunda nga bagezaako okubakakaatika wansi w’emmotoka gye baabadde beekwese olw’okutya okubasiba ng’ate baabadde tebalina ssente ze baayise ez’enguzi mu kiseera ekyo ze batera okubasaba okubasonyiwa.

Bano era baalaze minisita Kamya munnaabwe Prossy Babirye eyavuddemu olubuto lw’abalongo oluvannyuma lw’okumukuba ttiyaggaasi nga bagezaako okubakwata era gye byaggweeredde ng’omu ku balongo afiiridde mu ddwaaliro e Kawempe gye baddusiza maama waabwe.

KAMYA AWADDE EBIRAGIRO

Embeera eno ye yatabudde Kamya n’ayisa ebiragiro omwabadde;

l Okuyimiriza abaserikale ba KCCA abasoba mu 10 abaanokodwaawo.

l Okulaba ng’abasuubuzi bonna abaakwatibwa ku misango gy’okutembeeyeza ku makubo bateebwa n’okusaba ebitongole bya gavumenti okuli ekiramuzi okusonyiwa bonna abaali baasingisibwa ku misango gye gimu (egy’okutembeeyeza ku makubo).

lOkulagira abatembeeyi bonna beewandiise basobole okukolera obulungi mu kibuga Yeetondedde abasuubuzi olw’embeera gye bamuttottoledde era n’abasaba okwekolamu ekibiina batandike okuweebwa layisinsi enaabakkiriza okukolera emirimu gyabwe mu paaka nga bayita mu kusasulayo ssente ensamusaamu ezinaayamba gavumenti okubategekera obulungi ebifo we banaakolera mu kibuga.

Byabadde mu lukiiko olwatudde ku kizimbe kya Aponye ku Lwokuna akawungeezi n’ekigendererwa ky’okutema empenda ku ngeri entuufu gavumenti gye yabadde eyinza okumalawo okusoomoozebwa kw’abasuubuzi abakolera mu paaka ababadde batulugunyizibwa abaserikale ba KCCA.

Era gye byaggweeredde nga gavumenti ekakkanyiza n’abasuubuzi ku ky’okubaleka okuddamu okukolera emirimu gyabwe mu paaka z’emmotoka mu kibuga.