Kkamera za poliisi zikutte abaakuba owa KCCA

By Eria Luyimbazi

POLIISI ekoze ekikwekweeto mw’ekwatidde abavubuka abali mu kabinja k’abamenyi b’amateeka abaakuba n’okunyaga omukozi wa KCCA n’addusibwa mu ddwaaliro n’ebisago.

Basement 350x210

Kino kiddiridde poliisi okugenda ne yeekebejja ebifaananyi kkamera zaayo ez’oku nguudo bye zaakwata ne batandika okubanoonya okutuusa lwe yabaguddeko nga bakomyewo ku nguudo okuteega abantu abalala.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire yagambye nti abavubuka abaakwatiddwa kuliko Jafferi Kidayida eyeeyita Jafferi Alafa ne munne Ashiraf Matovu eyeeyita Steven nga bano bakkakkana ku mukozi wa KCCA, Mathias Ssekamatte ne bamukuba n’okumunyagulula naddusibwa mu ddwaaliro e Nsambya ku Lwokuna oluwedde.

“Tuludde nga tunoonya abavubuka bano era bwe twazzeeyo mu bifaananyi ebyakwatibwa kkamera eri we baamukubira e Nakasero ne tubategeera.”

Owoyesigyire bwe yategeezezza. Yagambye nti akulira poliisi y’e Nakasero, ASP Francis Liiga mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri yabakutte.

Yategeezezza nti abavubuka bano bazze bakyusa amannya nga bw’agenda okubba n’akwatibwa awaayo malala.