‘Twagala kumanya musaala gwa Byamukama’

By Musasi wa Bukedde

LOODI meeya Erias Lukwago ne Male Mabiriizi batutte okusaba mu kkooti nga baagala kkooti ebawe fayiro y’akulira akakiiko k’ebyokulonda, Simon Byabakama bamanye omusaala gw’afuna.

Lukwago 350x210

LOODI meeya Erias Lukwago ne Male Mabiriizi batutte okusaba mu kkooti nga baagala kkooti ebawe fayiro y’akulira akakiiko k’ebyokulonda, Simon Byabakama bamanye omusaala gw’afuna.

Bano bagamba nti Byabakama tasaanidde kubeera mu kifo ky’akulira akakiiko k’ebyokulonda kubanga akyeyita mulamuzi wa kkooti ejulirwamu  nga okufuna fayiro ye kigenda kubayamba okumanya omusaala gw’afuna na wa we guva oba mu kakiiko k’ebyokulonda n’essiga eddamuzi.

Bano okusaba kwabwe baakututte mu Kkooti Enkulu nga kuli mu musango omukulu gwe baggulawo omwaka oguwedde nga bawakanya akakiiko k’ebyokulonda okuteekawo ekkomo z’ennaku z’okutereeza enkalala z’abalonzi ne Byabakama okubeera ssentebe w’akiiko k’ebyokulonda nga bagamba nti  teyasooka kulekulira kifo kye kyabulamuzi.

Basabye n’omulamuzi,  Musa Ssekaana ali mu mitambo gy’omusango aguveemu kubanga tebamusuubiramu kusala mazima olw’okuba yali looya w’akakiiko k’ebyokulonda nga yaakawolereza mu kkooti.

Baategezezza nti Ssaabalamuzi Katureebe yayisa ekiragiro eri abalamuzi bonna mu 2009 obutawulira misango singa kiba ng’ omulamuzi yaliko looya wa gwe bawawaabira oba awaaba.

Omulamuzi Ssekaana yagaanyi okuguvaamu nga agamba nti Lukwago ne Mabiriizi bagezaako kumuyisaamu maaso, kumutiisatiisa na kuleeta byabufuzi mu musango.