Abasajja abansaba omukwano bakwabuzi

By Martin Ndijjo

Abasajja abankwana n’okunsaba omukwano mu kifo ky’okuwagira myuziki wange bangi ku bano bakwabuzi abannoonya olw’erinnya lyange abalala ssente ze nkola naye nneebaza Katonda eyampa omutima omugumu.

Naira1 350x210

NAIRA Ali y’omu ku bayimbi abaleese amaanyi okuvuganya n’okumenyawo abayimbi abakyala abaludde mu nsiike y’okuyimba.

Akoze ennyimba eziwerako yadde abasinga bamumanyidde ku ‘Tulo’ ne ‘Okikola otya. Mu kiseera kino alina oluyimba olupya lw’atuumye ‘Masala’. Luno lwa mukwano omuntu lw’asobola okukozesa okuwaana laavu y’omwagalwa we ng’agigeraageranya ku kintu ekisinga okuwooma.

Martin Ndijjo ayogedde naye n’amubuulira ku bulamu bwe obwabulijjo n’obw’okuyimba era emboozi yatambudde bweti:

Naira Ali y’ani? Nze Naira Ali Nabattu. Ndi mukyala Musiraamu ate neddira Njovu. Bazadde bo be b’ani era bakuzaala wa? Omw. Ali Ssesanga n’Omuky. Hawa Ssesanga babeera mu Kampala naye ewaffe Kayunga.

Watandika ddi okuyimba? Nasooka mu 2008 bwe nafulumya oluyimba lumu. Olw’okuba nnali nkyasoma, okuyimba nakuwummuzaamu mmalirizze emisomo ate nakuddamu mu 2014

Lwaki oyimba? Nga mmaze diguli mu ‘Graphic Designing’ e Makerere, natunula ng’ekintu ekiyinza okunnyanguyira okukola kwe kuyimba kubanga nnina ekitone ate nga nkwagala

Kusoomoozebwa ki kw’osanze mu kuyimba? Abasajja abankwana n’okunsaba omukwano mu kifo ky’okuwagira myuziki wange bangi ku bano bakwabuzi abannoonya olw’erinnya lyange abalala ssente ze nkola naye nneebaza Katonda eyampa omutima omugumu.

Twawulira gye buvuddeko nti walina obuzibu ne taata wo, kiki ekyali kibatabudde? Luyimba lwange olw’eddiini ‘Si nze’. Waliwo eyaluwulira nagamba taata nti Naira Ali alokose, ekyamunyiiza ng’omusajja Omusiraamu ayagala ennyo eddini ye. Wabula namusisinkana ne mmunnyonnyola ekituufu nti tekwali kukyusa ddiini wabula luyimba lw’abawagizi bange kubanga nninayo n’Abalokole.

Ebyo tubiveeko, oli mufumbo? Nedda naye nnina omusajja.

Lwaki totambula na musajja wo mu bivvulu? Olwa bizinensi z’akola tayagala bya ‘kwerabisa’ mu bulamu bwange obw’okuyimba.

Naye kati oyo ddala akwagala? Lwaki nedda. Obutalabika mu bivvulu tekitegeeza nti tanjagala oba tampagira. Laavu yaffe eri mu 100.

Kituufu abayimbi abato babakwana nnyo? Okukwana tekuli ku bayimbi bato bokka kasita oba ng’oli mukazi.

Olina kirooto ki mu kuyimba? Njagala kufuuka muyimbi ow’erinnya ku lukalu lwa Afrika.

Wakula weegomba muyimbi ki na lwaki? Mu Bulaaya, Celine Dion ate mu ggwanga Mariam Ndagire ne Madoxx Sematimba kubanga maama wange yanyumirwanga nnyo ennyimba zaabwe nga ndi muto.

Ate lwaki oyimbira mu ddoboozi lya Brenda Fassie. Sitayiro ya myuziki gwe ntera okuyimba yeefaananyirizaamu Afropop ow’Abasouth Afrika abasinga.

Mu bbanga lye waakayimbira olina ky’ofunyeemu? Bingi; okutuukiriza ekirooto kyange eky’okuba omuyimbi, nfuna emirimu egimpa ssente, nange kati ndi sereebu era nsisinkanye abantu abanene n’ab’obuvunaanyizibwa bangi. Nzimba n’ennyumba e Bombo n’ebirala.