Mbuga alaze muninkini we omupya amapenzi n'amuwaana

By Glorias Musiime

Omugaga SK Mbuga awaanye mukazi we omupya Angella Viviene Birungi okuba ow'enjawulo

Aba 350x210

Omugaga SK Mbuga, ali mu luwumula e Dubai ne mukyalawe omupya, Angella Viviene Birungi , agenze ku mukutu gwa ‘Facebook’ n’assaayo obubaka obuwaana kabiite we ono nga bwe yamutuuka ewala abalala gye bataasobola kumutuuka.

Gye buvuddeko, Burungi yayanjula Mbuga mu bazadde be era okuva olwo omukwano gubasaza mu kabu! Bombi basuubira bbebi  era bali Dubai Birungi gy’asuubirwa okuzaalira.

 buga nomuninkini we irungi Mbuga n'omuninkini we Birungi

 

Amuwanye ng’agamba nti ekintu ekisinga kwe kubeera n’omukyala ate nga muzadde . N‘agamba nti waamukisa okuba n’omukazi nga Angella Birungi Vivienne.

“The best thing a girl can be is a good wife and mother. It is a girl's highest calling. And she is ready am Blessed to have you my lad”