Saha akomyewo ne ‘Mwana ggwe’

By Musasi wa Bukedde

OLUVANNYUMA lw’ekiseera ng’asiriikiridde, omuyimbi King Saha agamba akomyewo ‘naloo’ (na maanyi) era ku mulundi guno ayagala kusibira ku ntikko y’abasinga okukuba omuziki mu ggwanga.

Kingsaha 350x210

OLUVANNYUMA lw’ekiseera ng’asiriikiridde, omuyimbi King Saha agamba akomyewo ‘naloo’ (na maanyi) era ku mulundi guno ayagala kusibira ku ntikko y’abasinga okukuba omuziki mu ggwanga.

Saha ng’amannya ge amatuufu ye Mansoor Ssemmanda agamba okusirika kivudde ku mbeera ebaddewo mu ggwanga ng’abantu obuufu babuzzizza ku byabufuzi ebintu ebirala omuli n’emiziki tebabiriiko nnyo wabula kati akomyewo kubanga n’abantu batandise okuddayo mu mbeera zaabwe eza bulijjo omuli n’okudigida.

“Okusirika tekitegeeza nti naggwamu wabula mbadde mu kwetereeza na kulaba nti nsinziira nkomewo n’amaanyi kubanga kati njagala kuba ku ntikko.

Mu butuufu embeera tebadde ya mulembe naddala emyezi nga musanvu egiyise olw’ebyobufuzi.

Nze ekiseera kino nkikozesa okuyiiyizaamu ennyimba eziwerako omuli ne ‘mwana ggwe’ olutandise okwogeza abantu obwama era nfunye n’obudde obumala okukola ku bintu ebinkwatako ne famire yange kubanga olumu obudde buno butubula era essaawa yonna nja kuba nsabuukulula eby’enkulaakulana bye nkoleddemu omuli n’amaka gange genaatera okumaliriza e Sseguku.”

King Saha y’omu ku bayimbi mu mugigi omupya abatunuuliddwa okusikira abanene era ono abawagizi be basinga kumuwaanako ddoboozi lye esseneekerevu.

Saha yasemba okulaga amaanyi mu May w’omwaka oguwedde bwe yakola ekivvulu ku lunaku lwe lumu ne Jose Chameleone amale ajjuze Freedom City.

Oluvannyuma lw’abantu abamu okuvaayo ne boogera nti okujjuza Freedom City abantu baamukwatirwa ekisa olw’amaanyi ga Chameleone ge yali amutaddeko kwe kugenda bamuwagire, Saha agamba omwaka guno agenda kukola ekivvulu okukakasa abo abatakkiriza nti asajjakudde.

OKUTANDIKA OKUYIMBA

Saha agamba kuva mu buto ng’ayimba era mu pulayimale yawangulako engule eziwerako era n’alondebwako ng’omwana asinze banne mu kuyimba mu disitulikiti y’e Mpigi.

Wadde Musiraamu ono yayimbirako mu kkwaya ya Klezia y’e Bugonga (maama we Mukatoliki).

Okuyimba okwa ssente yakutandika mu 2012 era yasookera wa musunsuzi w’emiziki (pulodyusa) Didi gye yava okwegatta ku kibiina kya Jose Chameleone ekya Leon Island.

Mu 2014 Saha ng’ali wamu ne Sam Mukasa eyali maneja wa Chameleone baayabulira ekibiina kya Chameleone ne bakola ekyabwe ‘King Love Entertainment era kati Mukasa ye maneja wa King Saha.

Bukya yeetongola, Saha buli mwaka agezezzaako okulaga amaanyi ng’akola n’ennyimba ezitava ku mimwa gy’abantu okuli ; Gundeeze, Muliraanwa, Be bantu baffe, sigino, Sikyasobola, Winner, munoonya, Lwaki tondiko, Sweet. Pretty, Sikyakusobola, Signal n’endala.