Byanabiwala byetiriboosezza mu bugoye bwa kokoonyo ne bissa abasajja amabbabbanyi e Lukaya

By Ssennabulya Baagalayina

BYANABIWALA ebyamyuka ebithambi ng’amatungulu byetiriboosezza emibiri ng’ebiwendule mu mpaka z’abayimbi abato katono abasajja batugibwe amalusu mu malokooli nga balookalooka n’abamu baggyeyo obusimu waakiri ne beekubye 'pica' za 'selefi'.

Aniasinga5 350x210

Essannyu lino lyabadde mu kifo ekisanyukirwamu ekya Kikankane Pub e Lukaya,empaka zaawakaniddwa abayimbi abato abeegattira mu kibiina kya Power Music Entertainment, abakulirwa Henry Mutaawe.

Mu byana ebyacamudde abalabi mwabaddemu abazinyi b’ekibiina kya Luck Boy International ekikulirwa Alex Ssebadduka, bino byatiribizza obubina n’okwetigonyolera ku siteegi mu bugoye obwa kokoonyo.

Waabaddewo n’ebyana ebirala ebyabadde  mu butebe nag birumiza eyo  wamma abasajja ne batunula nkaliriza ng’eno bwe bakubamu obufaananyi.

Wadde empaka tezaabaddemu kuwangula birabo naye zaagenderereddwamu okuzuula ebitone n’okumanya bwe bayimridde mu kisaawe ky’okuyimba ng’omugagga Michael Kalumba yabasuubizza okubasika ku mikono.