Lutaaya ayimbye ku kyasa ky’abaana abalya ssente ne yeewaana

By Musasi wa Bukedde

Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu abakulira ekibiina kya Da Nu Eagles bawaga. Beewaanye nga bwe bawambye ekisaawe ky’okuyimba mu 2016 nga kati bali ku mulamwa kubanga ekibiina bakizimbidde ku miti emito egifuuse ensonga.

Zina1 350x210

Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu abakulira ekibiina kya Da Nu Eagles bawaga.

Beewaanye nga bwe bawambye ekisaawe ky’okuyimba mu 2016 nga kati bali ku mulamwa kubanga ekibiina bakizimbidde ku miti emito egifuuse ensonga.

Da Nu Eagles yatandika mu 2014 oluvannyuma lwa Eagles Productions okusasika, Lutaaya ne Irene Namatovu ne baddukayo.

Baayita abayimbi abato ne babasunsulamu ne bafunamu 21 wadde abamu baalemererwa ekintu ne bakita.

Mu bafuuse ensonga mulimu: Jovan Luzinda eyayimba Nninga omutamiivu ne Mbooseera, Sasha Brighton owa So Lucky, Nnina amaalo ne Sswiiti sswiiti, Betina Namukasa ayimba: Emikisa gy’abakazi, Necklace ne Ompalula buwaluzi, Henry Mwanje alina ‘Abalya emmere’ ne Grace Khan eyayimba ‘Sijja kumuta’.

Abaana bano bwe balinnya ku siteegi oyinza okulowooza nti bayimbidde emyaka, ekifudde Da Nu Eagles bandi ey’amaanyi. Lutaaya yagambye nti newankubadde omulamwa guli ku baana bato, nabo tebatudde.

Buli kiseera bafumba ebipya era bazze bakuba ennyimba nga ‘‘Olweza, Kuzaala kujaagaana, Nkolerera baana bange, One and Only n’ Obugumiikiriza’’.

Bategese ekivvulu kye batuumye ‘Abali yadde yaddeko Tuli luno’ ku Club Obligatto ku Lwokutaano nga August 26.

August 27 ali ku La Grande Hotel e Bwaise ate nga 28 bagende ku Forest Park e Buloba.

Mu luyimba lwa ‘Tuli luno’ Lutaaya akulaga engeri abaana b’ekyasa kino gye basaasaanyamu ssente n’otuuka n’okulowooza nti bakuba ebicupuli wamu n’ebyana ebyambala enkunamyo eziteeka abantu ku bunkenke.

Ekitundu mu luyimba luno kigenda bwe kiti; Muli luno abakoowu bannange, kino kyasa ky’abaana abalya ssente, abambala obuteeteeyi obw’ebitundu, ssente muziggya wa baganda bange nange nkeereyo, njige eby’okujooga nange njooge, mwafunye n’eηηombo nti okulya ssente si kulya mwana kubanga mwekolera mmane zammwe, mweriira mmane zammwe ...” Lutaaya eyasangiddwa e Busaabala mu kutendekebwa yategeezezza nti anaasubwa ekivvulu kino tamunenya kuba agenda kukuba omuziki buli omu akkirize