Omudinka azze kuvuganya Bannayuganda mu muziki

By Musasi wa Bukedde

OMUYIMBI okuva e Sudan eyeeyita Mr. Independent ayingiddewo. Agamba nti azze kuvuganya bayimbi ba wano oluvannyuma lw’okudduka e Sudan olw’olutalo oluyinda.

United1 350x210

OMUYIMBI okuva e Sudan eyeeyita Mr. Independent ayingiddewo. Agamba nti azze kuvuganya bayimbi ba wano oluvannyuma lw’okudduka e Sudan olw’olutalo oluyinda.

Ggaayi ono e Sudan bamumanyi nga Dokita ng’ayimba ennyimba za Afro-Beat ne Zouk ng’ezisinga zikwata ku mukwano n’ez’obutebenkevu.

Yakolako oluyimba ne Awilo Longomba oluyitibwa ‘Crazy’ n’endala nga Wake Up ne Hizu Shake.

Yategeezezza nti engeri Uganda gyerimu Abasudan abangi kigenda kumuyamba okuvuganya obulungi n’asuubiza n’okuyimba mu Luganda bw’anaamala okulukaza obulungi.