Bebe Cool afuukidde ddala Big Size

By Musasi wa Bukedde

BEBE COOL ayabudde nga kati ddala Big Size! Bw’omusanga ng’akedde ku muzikiti okusaala Swala ettaano eza buli lunaku tobaamu kwekanga!

What 350x210

Kirabika Allah yakkiriza n’amwanukula era kati buli ky’akwatako kikutuka.

Big Size mu kiseera kino yaakaggya engalo ku nnyumba ye ey’abapangisa eya kalina okuli ennyumba ennya ez’enjawulo nga fulaati eriko waggulu ne wansi gy’agamba nti yagisaasaanyizzaako akawumbi kamu n’ekitundu nga totaddeko poloti kwe yagizimbye gye yagambye nti yagigula bukadde bwa ssente.

Kati essira alitadde ku maka ge agali e Kiwatule okumpi n’enju zino ez’abapangisa nga gano gali ku yiika bbiri n’ekitundu wakati mu miti.

Enju eno erimu ebisenge 5, wabula ng’ekisenge ekikye ne mukyala we Zuena kitwala omwaliiro mulamba.

 maka ga ebe ool gazimba e iwaatule Amaka ga Bebe Cool g'azimba e Kiwaatule

Mu mwaliiro gwe gumu kuliko ekifo w’awummulirako okuli sheedi eyeetooloddwa ebimuli nawo nga waliwo awawummulirwa.

Wansi waliyo ebisenge bina okuli eky’abaana abawala, eky’abalenzi, abakozi n’abagenyi nga nayo asuubira kugisaasaanyizaako buwumbi ng’ewedde bw’obalirira ekikomera, awawugirwa n’amazzi ageekasuka mu bbanga by’agenda okussaako.

Enju y’abapangisa ng’eriko ennyumba nnya ezeetongodde, buli emu asuubira okupangisa ssente eziri wakati w’akakadde akamu n’ekitundu n’obukadde obubiri.