Abayimbi ba ‘twalyako bye twalya’ abalwana okudda engulu

By Musasi wa Bukedde

OKUYIMBA y’emu ku bizinensi omuli okuvuganya okw’amaanyi. Eno terina njawulo na byabufuzi. Mu mbeera eno bukya mwaka guno gutandika, abayimbi buli omu akola na maanyi okudda ku maapu oba okwekuumira waggulu.

United 350x210

Olw’okuba bangi omuli n’abayimbi ab’amannya omwaka oguwedde gwabayisa bubi olw’obutaba na ‘waaka’ ng’enjogera y’ennaku zino bweri ne bavumbeera, bano kati buli omu alwana na maanyi okudda engulu kiyite kikwekweto kweyimusa.

Waliwo n’abayimbi abato abajja n’amaanyi wabula mu bbanga ttono ne bazikira mpola nga n’abamu tebakyawulikika ekivuddeko abawagizi okutandika okubeeyitira abayimbi ba ‘‘Twalyako bye twalya’’ ekitegeeza nti baaliwo naye kati baagwa. Twayogedde n’abamu ku bayimbi ne batubuulira ekyabasuula, gye babulidde ne kye bakola okulaba nga badda engulu.

ZIZZA BAFAANA

Mu 2016 yali ayogerwako ng’omu ku bayimbi abasinga okukuba emiziki mu ggwanga era abawagizi be nga bamweyitira Kabaka wa ‘dance hall’ olw’engeri gy’afukumulamu ebigambo.

Wadde abasinga bakiteeka ku kwawukana n’eyali maneja we Roger Lubega eyali afubye okumutunda, Ziza Bafana agamba obutawulikika omwaka oguwedde kaali kakodyo okwewa obudde okubaako ebipya byayiiya, okukkakkanya puleesa n’okuleetawo ennyonta mu bawagizi era kati bamubuuza n’okumuyaayaanira.

Agamba nti kati akomyewo ng’alina olutambi lwatuumye ‘‘Discipline’ okuli ennyimba eziwerako era essaawa yonna abawagizi be bagenda kumuwulira.

JOSE CHAMELEONE

Ono yasinzidde ku bbaala ya Cayenne wiiki ewedde n’asoosootola oluyimba lwe omupya ‘Champion’ n’asekerera abamwogerera nti talina waaka baddemu boogere.

Agamba nti wadde waliwo ebitatambudde bulungi omwaka oguwedde, luno oluyimba luteekwa okumuzzaayo mu kifo kya nnamba emu. Ono aludde nga takola bulungi nga n’ennyimba ze tezikyakwatayo.

IRYN NAMUBIRU

Okumala ebbanga, Namubiru abadde ayogerwako ng’omu ku bayimbi abakyala abasinga okukuba emiziki mu ggwanga.

Wabula ennaku zino ebintu tebimutambulira bulungi ekireetedde abantu okumwogerako ng’eyaggwaamu.

Wabula Namubiru tatudde, agamba nti abaddeko n’ebintu ebirala byakola osanga bye bibadde bimutwalidde obudde kyokka akomyewo na nkuba mpya era atandikidde ku luyimba lwe ‘I love you’.

Wabula abamu bagamba nti okugoba maneja we Thadius Mubiru nakyo kyamukosa nnyo.

CHRIS EVANS

Agamba nti okusiriikiriramu omwaka oguwedde abadde mu kwetereeza n’okubaako ebirala by’amaliriza kyokka guno omwaka ayagala kukola n’amaanyi okulaba ng’addayo waggulu akole n’ekivvulu. Atandikidde ku luyimba lwe olupya “Leero Lwange” olw’omukwano.

Agamba nti omukwano gw’ayimba ayagala okugwongeramu ebirungo okulaba ng’ayongera okusanyusa abawagizi be. Ono maneja we okwemalira ennyo ku mupiira kimukosezza nnyo.

KING SAHA

Oluvannyuma lw’okukola obulungi mu 2015 ne 2016, Saha agamba omwaka oguwedde yaguwaayo okwetereeza n’okubaako ebyenjawulo byaleeta mu myuziki we.

Agamba nti afunye obudde obumala okuyiiya ebipya era guno omwaka ayagala kuddayo ku ffoomu ye gye yaliko emabega.

Atandikidde ku “On my Way” era okwongeramu ebirungo vidiyo yagikwatidde mu ggwanga lya Tanzania. Kyokka waliwo abatugambye nti ebyo ayogera kwekwasa ekituufu tabadde na ‘waaka’.

A PASS

Ono omwaka oguwedde yagum- ala ng’ennyimba ze azitundira ku mukutu gwe ogwa Facebook era teyakolayo vidiyo ya luyimba lwonna n'ategeeza okuwa abawagizi be ekipya era n'ayingizaawo oluyimba lwa 'Didadada' olukutteyo ennaku zino

BIG EYE

Ono yafulumizza oluyimba oluyitibwa 'Salompasi' wabula yategeezezza abawagizi be alina by'abaterekedde bingi okusinga ku bibaddewo omwaka oguwedde.

Yeewaanye nga bw'agenda okusabuukulula obulabo bw'obuyimba obupya bw'alina ng'agamba nti w'anaatuukira mu December nga by'abawadde tebajula.

NINCE HENRY

Ono baali bamukazizzaako lya ‘muyimbi w’abakyala’ olw’ennyimba ze ezibacamula n’okubasuusuta. Agamba okusiriikirira yakikola akigenderedde okwewa obudde okubaako ebintu ebibye ebirala by’akola.

Wabula agenze okulaba ng’erinnya lizikira kwe kusalawo akomewo ku maapu. Alina alubamu empya eriko ennyimba 16 okuli: Boda boda ne Kiki era ono agamba nti yazzeemu n’okuwandiika ennyimba kubanga mulimu.

COCO FINGER

Ono amaanyi abadde agamalidde mu byalo ne mu bitundu by’omu mambuka g’eggwanga gye bamuzaala naye agamba kye kiseera okuddamu okuwamba Kampala kubanga ye ntabiro ya buli kimu.

“Mpulira bangi aboogera nti Coco Finger yaggwaamu naye kino si kituufu. Olw’okuvuganya okuli mu Kampala mbadde amaanyi nagateeka mu byalo ne mu mambuka g’eggwanga ssaako South Sudan naye kati njagala kuddamu ne Kampala mukube nga bwe nakikolanga.”

Ono ali mu kuteekateeka ttiimu y’aba maneja egenda okumuyambako okulaba ng’addamu okufuuka omuganzi mu Kampala n’eggwanga lyonna.

RABADABA

Amannya ge amatuufu ye Faisal Sseguya. Abadde yazikira kati alwana kudda ngulu era agamba nti alina essuubi nti lumu ajja kuddamu okwaka n’okufuna ettutumu lye yalina.

Ono abadde ayogerwako ng’omuli w’obulamu, era ennaku zino azze alabibwako mu bivvulu ne mu bifo ebisanyukirwamu ng’ayimba era okumanya abawagizi be bakyamwagala buli lwasuulamu ennyimba ze naddala enkadde okuli: ‘Ability, Mukyamu bwe kiri, Nsuula Olunyiriri, Okimansuza, Campus girl n’endala bacamuka. Okufa kw’omuyimbi Thadeus gwe yafumita ekiso kwamukosa nnyo.

NABBI OMUKAZI

Amannya ge ye Maggie Kayima. Okwawukana ne Pasita Yiga eyali amuteekamu ssente kyamuzza emabega era katono eby’okuyimba abiveemu.

Agamba nti omwaka oguwedde agukozesezza okunoonyereza n’okumanya abawagizi be kye baagala asobole okulaba nti kyabawa.

Yategeezezza nti abaddemu n’okusoomooza olw’entalo zabaddemu n’abantu abalala ebimutwalidde obudde naye kati abimaze akomyewo ku muziki. Atandikidde ku ‘Tomoni’ ne ‘Anjagala’ eza laavu.

OMULANGIRA SSUUNA

Ono bangi bamwogerako nga eyazikira kyokkka agamba nti aboogera ekyo kirabika tebamutegeera.

Wadde akkiriza nti ebintu bibadde tebimutambulira bulungi okumala ebbanga olw’ensonga ezitali zimu omuli ne za laavu, agamba nti guno omwaka ayagala kugukozesa kweddabulula n’okudda ku maapu.

Ng’oggyeeko okukola ennyimba n’abayimbi abalala nga “Tewali mbeera” lwe yakoze ne Gravity Omutujju, alina ne “Nga Onyumye” lwe yakoze yekka.

Yafunye n’abantu abalala okumuyambako n’okumutumbula okuli, Thadeus Mubiru eyaliko maneja wa Iryn Namubiru.

PALLASO

Oluvannyuma lw’okukola ekivvulu e Kyandondo ku Rugby Grounds ekya ‘Soma concert’ ne kimusala mu December, Pallaso agamba nti atutte ekiseera okwetegereeza n’okuzuula awaali ensobi era kati ayagala kuddamu kukwatagana na bawagizi be.

Mu bipya by’alina mwe muli oluyimba lwa ‘Tumywemu ku lwekyo’. Endala okuli Jujju lwe baakoze n’omuyimbi Meddy Zale Omunyalwanda.

ABDUL MULAASI

Ono buli kibeerako kyayimbako. Angella Kalule bwe yeekubye ebifaananyi abamu bye baayita eby’obuseegu amangu ago n’akuba oluyimba lwa ‘Kookoonyo’ n’afulumizaako ne vidiyo.

Yazzaako n’olulala ‘Byali mu pulaani’ nga kati yayingizzaawo “Muko musajja”. Kyokka ennyimba za Mulaasi engeri gye zibeera eng’ombo ziyite ezicamuukiriza, tezirwa ku katale nga ziggwaako.

Yeetaaga okufuna omuwandiisi w’enny-imba omulungi n’okuziwa obudde ng’azikola. Asinga kuyimbira mu byalo.

Abalala kuliko;

  • Red Bantono (okuggyako okulemera mu Kampala takyalina lugendo),
  • Henry Tigan, Maureen Kabasiita (emabegako yakola bandi),
  • Haruna Mubiru (abadde n’obuzibu bw’ekibiina kye okuyuuga era akati ali mu kaweefube wa kwetereeza nga bwatereeza n’abayimbi be).
  • Sophie Nantongo (alina ennyimba empya naye kirabika eby’okuvuganya yabivaako yasigazza kuyiiya nnyimba za mikolo gye bamupangisa okuyimba).
  • Measch Ssemakula (ennyimba azifulumiza kumu kumu naye tezikwatayo).
  • Grace Nakimera (ayagala kusooka kuzza linnya na kifaananyi kye mu bantu. Yatandise na kakodyo ka kutalaaga ebitundu ng’addukirira abatalina mwasirizi).
  • Kalifa Aga Naga (eyaali maneja Emma Carlos Mulondo okumusula n’agenda mu Goodlyfe kimuzizza emabega.
  • Ronald Mayinja (wadde agezezzaako okukola ennyimba empya, ebyobufuzi bimututte).
  • Lil Pazzo (okuva lwe yayimba Gula emmotoka ne lukwatayo afulumiza ennyimba eziwerako kyokka zigaanye.
  • Samali Matovu (omukwano gunyuma) kati ayimbira mu kkanisa,
  • Hajjati Madina Bibuuza (kati ali ku kitanda),
  • King Michael yafuuka wolole wa Bryn White.