Faridah Nakazibwe akyazizza bba mu nkukutu

By Musasi wa Bukedde

Omukolo baagukoze mu kyama nnyo olw’okwekengera abantu abaabadde baagala okugutabula era bangi ku booluganda lwa Nakazibwe ne Dr. Ssali omukolo bagutegedde guwedde, abalala obwedda balaba bifaananyi bya Nakazibwe ne babuuza kye yabaddeko.

Kyaza 350x210

FARIDAH Nakazibwe asoma amawulire ku NTV kyaddaaki akyazizza bba Dr. Omar Ssali mu bazadde be n’awera okufaafaagana n’omuntu yenna ayagala okutabula obufumbo bwe.

Wabula abaagalana bano baasooka kukola mbaga ekyewuunyisa abantu nga bagamba nti mu nkola entuufu, omuko asooka kukyala, n’ayanjulwa, oluvannyuma embaga n’eddako nti kyokka eby’abano babikyusizzaamu.

Omukolo gwabaddewo ku wiikendi e Masaka mu maka ga Muky. Sarah Nakiyingi Ssenyonjo (maama wa Nakazibwe) mu Soweto Zooni.

Bagukoze mu kyama nnyo olw’okwekengera abantu abaabadde baagala okugutabula era bangi ku booluganda lwa Nakazibwe ne Dr. Ssali omukolo bagutegedde guwedde, abalala obwedda balaba bifaananyi bya Nakazibwe ne babuuza kye yabaddeko.

Omukolo guno we gubeereddewo nga Nakazibwe ali mu lutalo ne Justine Nameere gw’alumiriza okumusojjanga n’okuweereza bba (Omar Ssali) obubaka okumuggya ku mulamwa gw’obufumbo bwe yaakafuna.

Embeera eno ye yaviirako ne Nameere okuddukira mu kkooti ensonga zaabwe kati gye ziri n’aloopa Nakazibwe emisango omuli gw’okumulebula.

Ng’omukolo tegunnabaawo, ebigambo byasoose kuyiting’aana nga Nakazibwe bw’agenda okwanjula bba kyokka obwedda abamubuuza okukakasa, abamu nga tabaddamu abalala ng’abagamba kimu nti si kituufu okwewala be yayise abakyamu okumutabulira emikolo.

Kyokka omu ku bantu abaabadde ku mukolo guno yatutegeezezza nti gwabadde gwa kukyala so ssi kwanjula.

Omukolo olwawedde, Nakazibwe aliko ebimu ku bifaananyi ebyamukubiddwa bye yafulumizza ne bisaasaanira ku mikutu gya yintanenti okukakasa abawagizi be nti kiwedde kyokka mu bino bba teyabaddemu ekyaleetedde abantu abamu okutandika okwogera nti bba, Dr. Ssali teyazze Nakazibwe, yataddewo kifaananyi kya bba.

Wabula omu ku mikwano gya Nakazibwe ow’oku lusegere ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti Dr. Ssali omukolo yagubaddeko wabula yagaanyi eky’okuteeka ebifaananyi bye ku yintanenti.

Wadde Nakazibwe ne Ssali kati bamaze ebbanga nga baagalana, laavu yaabwe bagitambuliza mu mbeera ya kyama olw’okusoomozebwa n’ebizibu bye bayitamu naddala ku ludda lwa Nakazibwe omuli n’abasajja b’azze alekawo aboogerwako okwagala okumulemesa Ssali.

Mu October wa 2016 Nakazibwe yawalirizibwa okusaazamu omukolo gw’okwanjula gwe yali ategese nga October 8, mu maka g’omugenzi Hajji Shakib Ssenyonjo e Masaka mu Soweto Zooni olw’obunkenke obwaliwo nga kigambibwa bwali buva ku nkolagana gye yali alina ne Hajji Moses Kigongo. Era gye byaggwera nga Nakazibwe addukidde Dubai gye baasisinkana ne bba ne babawoowa.