Spice Diana afuuse ekirala mu bbaala...! Asabye ssente z'akameeza ne bazimusonseka mu kaleega maneja n'atabuka

By Moses Nsubuga

Feffe Bussi yasanze akaseera akazibu ng’atongoza oluyimba lwe ne Spice Diana olwa “Ssente z’akameeza”, Spice Diana eyabadde mu kagoye akabadde nga nnayiti bw’eyamusise enviiri, okumukwata amataayi, amutege obumaso ng'agezaako okula ebintu abakyala bye bakola nga basaba ssente z’akameeza.

Sentezakameeza31 350x210

Abadigize baalabye alaajanira ez'akameeza ne beeyiwa ku siteegi ne batanula okumufuuwa ssente nga bazipakira mu kaleega ka Spice Diana omwabadde ne ddoola.

Spice yatuuse ku siteegi ku ssaawa 8:30 ez'ekiro era yasoose kuyimba nnyimba ze endala wabula we yatuuse ku musolo gw’akukameeza n'aggyamu engato ze n'asaba abawala abamuwagire ku nsonga eno kuba yabadde alwanirira bbo.

alt=''
alt=''

Spice yafuuse kirala ku siteegi omuli okusika Fefebussi enviiri, okumutega obumasu ng'eno bw'abanja ez'akameeza, okutega akamusu k'ebithambi nga bw’amutega ekyensuti, n'okumwakata amatayi asole ez'akameeza ebintu obwedda ebicamula abawala ne bakuba enduulu eya waggulu.

alt=''
alt=''

 

 

Feffe Bussi naye obwedda abasajja bamugumya nga naye bw'asikambula mwana muwala onoera oluvannyuma abadigize be baataasizza embeera oluvanyuma lw’okufuuwaSpice Diana ssente mu mabeere ekintu ekitaasanyusizza manega we n'alagira ekivvulu nga tasobole kuguminkiriza biddako. Olwo ssaawa nga ziri 9:30 ez'ekiro

Baabadde ku Amnesia.