Ekivvulu kya B2C kiri mu ggiya

By Musasi wa Bukedde

ENTEEKATEEKA z’ekivvulu ky’abayimbi b’ekibiina kya B2C okuli: Peterson Ssali (Bobby Lash), Julius Kasagga eyeeyita Delivad Julio ne Richard Mugisha amanyiddwa nga Mr. Lee ziri mu ggiya.

4032101221063565527655903182201094205865984n 350x210

Ennaku zino basiiba n’okusula nga bawawula amaloboozi batuuke ku lunaku mulindwa nga temuli wadde akafuufu.

B2C be bamu ku bayimbi abayimbira awamu abawambye ekisaawe ky’okuyimba mu Uganda ensangi zino.

Andy Mugerwa maneja wa B2C yategeezezza nti B2C kitegeeza ‘Born to Conquor’ ekivvuunulwa nti ‘Twazaalibwa kuwamba’.

Ekibiina kino kyatandikibwa emyaka ebiri emabega nga kikulirwa Andrew Mugerwa amanyiddwa nga Andy Events.

Bazze bafulumya ennyimba ezinyuma okuli: Njabala, Tokigeza, Wansensera, Nkwagala, Gutamiiza, Wanyonoona, Songea, Sure Deal, African Beauty, Mateeka, So Fly n’endala.

Abayimbi bano bagamba nti bali ku mulamwa gwa kufuuka abayimbi ab’amannya kyokka nga bye bayimba biwa abavubuka mu Uganda n’ensi yonna essuubi n’okubazzaamu amaanyi nti nabo basobola.

Bazze bakola ne kolabo n’abayimbi ab’amannya nga ‘Gutamiiza’ lwe baakola n’omugenzi Moze Radio, Kapande lwe baakola ne Eddy Kenzo. Bayimba Ragga, RnB, Zouk ne Reggae ng’omuziki baagutandikira mu kkanisa.

Andy Mugerwa yategeezezza nti bategese ekivvulu okulaga olugendo lwabwe okuva gye baatandikira okuyimba okutuukira ddala we bali kati. Ekivvulu kino kye baayise ‘B2C Live in Concert’’ ekyebyafaayo bakitadde ku Freedom City e Najjanankumbi nga September 7, 2018.

Enkeera nga September 8, bali ku Satellite Beach e Mukono ate nga September 9, babeere ku Big Zone e Nansana. Okuyingira 20,000/- ne 30,000/- ate emmeeza ya 1,000,000/-.

Andy Mugerwa yategeezezza nti ekivvulu ky’abayimbi be kiri mu ggiya era abantu abamanyi obuwoomi bw’omuziki gw’abavubuka bano baatandise dda okugula tikiti zaabwe n’okwekwata emmeeza.

Yagambye nti wiikendi eddako nga September 14, 2018 baakubeera ku Hilltop Gardens e Ssemuto, Jinja Trans Africa nga September 15, ne Iganga nga September 16.

Vision Group efulumya ne Bukedde ebataddemu ssente.