Bannayuganda mukuume emirembe

By Deo Ganyana

Irene Mirembe Kayemba akubye oluyimba olukubiriza Bannayuganda okukuuma emirembe nga bagoberera amateeka.

Kuba 350x210

Oluyimba luno alutuumye ‘‘A better Country’’. Mirembe mutuuze w’e Wampeewo ku lw’e Gayaza.

Mirembe agamba nti okutandika okuyimba kyaddiridde embeera eriwo mu ggwanga ye gy’agamba nti teyeetaagisa mu kiseera kino n’asaba abantu okukwata obulungi bannaabwe.

Yagambye nti oluyimba luno yalukubye okuzzaamu abo abanyigirizibwa mu ngeri emu oba endala essuubi n’amaanyi n’okubagumya nti tebaggwaamu mmaanyi.

Oluyimba luno yalukwatidde ku Kibz Records e Ntinda nga luno lwe luyimba lwasoose okufulumya.

Mirembe ali mu famire y’aba Eddy Yawe.