Omukwano si ddogo

By Musasi wa Bukedde

HENRY Mutaawe afuuse ensonga mu Golden Bandi. Awadde bakama be n’abawagizi ba Golden Bandi essuubi ly’okutwala ekibiina kino mu maaso olw’omuziki gwakuba.

Mesachgoldenband 350x210

HENRY Mutaawe afuuse ensonga mu Golden Bandi. Awadde bakama be n’abawagizi ba Golden Bandi essuubi ly’okutwala ekibiina kino mu maaso olw’omuziki gwakuba.

Ku myezi mukaaga gye yakamala mu kibiina ensi etandise okumutegeera olw’ennyimba ze eziwoomera abadigize. Mutaawe ye yayimba oluyimba lw’omukwano ‘‘Walogera wa’’ olulaga abaagalana abali mu laavu ey’ekimmemmette kyokka ababalaba ne balowooza nti omu akozesa ddogo.


Oluyimba luno lukubibwa ku leediyo ne ttivvi ez’enjawulo. Kyokka abalabye ku muvubuka ono ng’akooka balowooza nti alina oluganda ku Mesach Ssemakula olw’eddoboozi lye n’enfaanana era naye amweyitira musika we mu by’omuziki.


Alina n’enNyimba endala nga: Tukola,Nkutongoza ne Obadde ludda wa nga zonna baazikwatidde mu Khan Studios. Mesach yamulonda Masaka gye baali bagenze okuyimba.