Lutalo ne Sheebah beeraga leero eryanyi

By Musasi wa Bukedde

ABAYIMBI David Lutalo ne Sheebah Karungi bamazeeko 2018 n’okuyingira 2019 nga bookya mu kukuba omuziki. Kyokka waliwo okukubagana empawa mu bantu nga beebuuza ku Lutalo ne Sheebah ani asinga okukuba engoma.

ABAYIMBI David Lutalo ne Sheebah Karungi bamazeeko 2018 n’okuyingira 2019 nga bookya mu kukuba omuziki. Kyokka waliwo okukubagana empawa mu bantu nga beebuuza ku Lutalo ne Sheebah ani asinga okukuba engoma. 

Sheebah bwe yategeka ‘Mwoyo Concert’ abadigize baamuwagira mu bungi kyokka ne Lutalo bwe yategese  ekivvulu kya ‘Nakusiima Concert’ yalaze nti ye nnamba emu mu kukuba omuziki olw’engeri abantu gye bazze bamuwagira mu bifo byonna byayimbiddemu.   

 
W’osomera bino nga Lutalo ne Sheebah be bamu ku bayimbi abavuganya ku ngule ya HiPipo Awards ey’omuyimbi asinga okukuba omuziki mu ggwanga n’oluyimba olusinga ezigenda okubeerawo enkya ku Lwomukaaga.


Ng’abantu tebannaba kusalawo, Lutalo ne Sheebah basookera ku Theatre La Bonita mu Kampala gye bategese olutalo lw’endongo giyite ‘Battle’ mwe bagenda okuttunkira mu kukuba omuziki, okuzina, okwambala n’ebirala olwo abadigize basalewo ani akira ku munne.


Teebereza nga Lutalo akuba Ujuwe ate Sheebah n’ayingizaawo Ice Cream. Bw’aleeta Eat Zote ono n’akuba Wankonakona.  Lutalo bwakuba Nkwagalira ddala, Sheebah n’akuba Nkwatako wamma ne nkulabira. Bino bigenda kubeera mu kivvulu ekituumiddwa ‘‘Nakusiima mu Wankonakoona Concert’’ ku Theatre La Bonita leero ku Lwokutaano n’enkya ku Lwomukaaga. Okuyingira 40,000/- ne 50,000/-.


Lutalo amaze emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba. Yatandikira ku nnyimba nga Kapaapaala, Ayi Mukama, Kwasa kwasa, Saabulula, Manya, Mubbi bubbi, Woloolo n’endala ate Sheebah alina: Omwoyo, Love, Beera nange, Mummy yo,  Embeera zo, Binkolera, Go down, Nze wuwo, Sitaan Tonkema n’endala nnyingi.