John Blaq ayimba ‘Tukonekitinge’ anyumizza gyenvudde we: 'Nakolako obwa ‘poota’ mu kkolero lya Azam n’okutikka emiguggu ku mmotoka'

By Martin Ndijjo

BW’OMUWULIRA engeri gy’afukumulamu ebigambo nga bw’abinyoola ate ng’alinga abirya oyinza okulowooza mwana muto y’adoodooma oba omuntu omukulu ayiga okuyimba.

Blaq1 350x210

Ono ye mwanamulenzi John Blaq eyeekoledde erinnya mu nsiike y’okuyimba olwa sitayiro ye empya ekutte abavubuka omubabiro era bangi bagamba nti ebbango aliwanise.

Ekyewuunyisa nti naye sitayiro gy’ayimba tagimanyi era bw’omubuuza akuddamu kimu nti ayimba mu buli sitayiro.

Okumanya John Blaq y’omu ku bayimbi kati abaliko, abasinga tebafa na ku makulu oba bigambo byakozesa oluwulira ekidongo n’eddoboozi lye nga batandikirawo okusala ddansi ng’eno bwe bageegeenya oluyimba.

ENNYIMBA EZIMUTUNZE

 ohn laq ngatiguka nomuwala eyali amwepikira John Blaq ng’atiguka n’omuwala eyali amwepikira.

 

Ezimu ku nnyimba ezisinze okumutunda n’okukwata abantu omubabiro ye ‘Tukwatagane’ abamu lwe bayita ‘Tukonekitinge’ ssaako ‘Obubadi’ era zino zikubwa kumpi mu buli ekifo ekisanyukirwamu ne ku mikolo ate naye ng’omuyimbi kati ali ku katale.

Ennyimba ze endala kuliko: Romantic, Makanika, Sweet love (lwe yakola ne Vinka), Replace me (lwe yayimba ne Sheebah wamu ne Grenade), Kyayoya (yayimba ne Daddy Andre wamu ne Prince Omar).

Wadde agamba nti yava Jinja gye bamuzaala ng’asiibudde, ali mu kweraliikirira olw’abayimbi abamu baagamba nti batandise okumutiisatiisa okumuloga bamusiraanye ave mu kuyimba olw’okubatwalako abawagizi.

Akyusizza myuziki

John Blaq mu kiseera kino ayogerwako ng’omu ku bavubuka abakyusizza muziki olwa sitayiro gy’ayimba abamu gye batuumye ‘‘Drunken sitayiro’’.

Nga malirizza S6, nasalawo okutandika okuyiiya era wano nafuna obuzibu ne ssenga gwe nnali mbeera naye e Bweyogerere olw’okuva awaka nga sisiibudde.

Embeera yasooka kukaluba ate nga sisibola kudda wa ssenga kubanga nali naddukayo kwe kusalawo hhende ewa maama e Jinja okuyiiyiza eyo.

Embeera gye nasanga ewa maama yali nzibu nnyo era namalayo ennaku ntono ne nzirukayo ne nzira e Kampala okuyiiya obulamu.

 ohn laq ayimba alya ebigambo John Blaq ayimba alya ebigambo.

 

Nakolako obwa ‘poota’ mu kkolero lya Azam n’okutikka emiguggu ku mmotoka mu kkampuni ya Mineral Oil.

Mu kiseera kino nali ntandise okuyimba era ku nkomerero ya 2017 kwe kuyingirira ddala ensiike eno mu mbeera y’okuvuganya nkole ssente era ndi ku lugendo lwange okufuuka omuyimbi nnantameggwa.

Eddoboozi linfudde ow ’enjawulo

  • Kuva buto ng’akaloboozi kange katono era abantu abamu bang'amba nti njogera ng’abakazi. Lumu nalwala ekifuba ekyantawaanya ennyo era kyagenda okuwona nga n’eddoboozi likyuse ligezze. Saamanya nti Katonda ankoledde ekyamagero ekigenda okundiisa ng’omuloodi.
  • Ekimu ku by’okulwanyisa abayimbi kye balina lye ddoboozi mwayimbira bwatyo ne John Blaq agamba eddoboozi lye limufudde omuyimbi ow’enjawuulo ayogerwako mu kiseera kino.
  • Ayongerako nti ‘abazalawa’ eddoboozi lyange tebalitegeera era be bampa amaanyi okwongera okukola nnyo mbakakase nti nze muyimbi aliko. Kati nkuze saagala bya kumpaana kubanga njagala nnyo okukakasa abantu. Waliwo abambalirako emyezi esatu nti nja kuba mpeddeko, abalala mwaka gumu naye kye balina okumanya nti John Blaq nazze sikyaddayo ate kye nkola nkimanyi.