Muwala wa Kusasira amatira Rema okusinga nnyina

By Musasi wa Bukedde

MUWALA wa Kusasira kirabika asinga kumatira muyimbi Rema Namakula. Bwe yaweereddwa omukisa okwogera eri abazze okumujagulizaako yagambye nti “Kusasira ye maama wange era mmwagala naye matira nnyo Rema’’.

Father 350x210

Okukakasa kino bwe baamugambye okubaako oluyimba lw’ayimba yalonze ‘Touch my body’ olwa Rema Namakula.

Phinera Jollen Nagayi muwala w’omuyimbi Catherine Kusasira ye yayogedde bino ekyewuunyisizza abantu abeetabye ku kabaga ak’ebbeeyi maama we ke yamukoledde ng’ajaguza okuweza emyaka 13.

 agayi wakati ne banne ku masala Nagayi (wakati) ne banne ku masala.

Ku kabaga kano akaabadde ku Land Star Hotel e Makindye ku Lwokutaano, Phinera yayongedde okukakasa nga bw’ayinza okufuuka omuyimbi ow’omutawaana okusinga ne bazadde be (Kusasira ne Fred Sserugga) bwe yakubye abagenyi be emiziki egyasitudde n’abamu mu butebe bakoone dansi.

Kusasira bwe yatuuse okwogera yayogeddeyo bitono oluvannyuma n’agamba nti “Phinera yaηηamba nti nze bye nnyimba tebimunyumira kammuyitire ‘maama’ we Rema gw’asinga okwagala ayogere.”

 agayi ngali ne ema amakula gwamatira Nagayi ng’ali ne Rema Namakula gw’amatira.

Rema eyabadde omucamufu yeebazizza Phinera okumwagala ennyo era naye n’amusuubiza okumubeererawo mu buli kimu ebbanga lyonna.

“Nkimanyi onjagala nnyo ne maama wo (Kusasira) yaηηamba weegomba nnyo Rema naye nkusuubiza ηηenda kubeerawo. Oyagala nnyo okuyimba era ndi mwetegefu okuyamba naye ate njagala ne ku ssomero osome nnyo era obeere muwala ow’empisa awo ojja kuba muwanguzi,” Rema bwe yamubuuliridde.

 agayi wakati ne banne ku masala Nagayi (wakati) ne banne ku masala.

Akabaga era kalaze nga bwe waliwo enkolagana ey’enjawulo wakati wa famire ya Sserugga ne Kusasira n’eya Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu anti ng’ogyeko abaana ba Lutaaya okwetaba ku mukolo, embeera n’engeri obwedda gye bakwataganamu n’aba Kusasira okugeza Pius Lutaaya nga tateηηana ne Shadrack Jjingo Sseruga Junior owa Kusasira so nga Nalule Lutaaya naye yabadde tava ku lusegere lwa Phinera.

Ne muwala wa Sserugga omukulu (atali wa Kusasira) Oprah Sserugga naye ku kabaga yabaddeko era yasiimye Kusasira okubaagala ennyo.