Abayimbi beesunga kusanyusa badigize mu Kyepukulu

By Musasi wa Bukedde

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne Bukedde

Chozenbeckyclearwebuse 350x210

TEWAKYALI kulanga kulala ‘‘Ekyepukulu Ani Asinga 2019’’ kigenda kubeera mu kisaawe e Wankulukuku nga August 4, 2019. Abbey Musinguzi owa Abtex Productions yagambye nti, abayimbi bonna abategeera omuziki mu Uganda ne bakazannyirizi ab’amannya bagenda kubeerayo okubakubira omuziki. 

Abasajja bakulembeddwamu David Lutalo. Abalala kuliko: Geoffrey Lutaaya,  Haruna Mubiru Kitooke, Chris Evans, Ronald Mayinja, Gravity Omutujju, Mathias Walukagga, Kazibwe Kapo ne Eddy Yawe ate bakazannyirizi bakulembeddwamu MC Mariach. Bbo abakyala bakulembeddwamu Sheebah Karungi, Rema Namakula, Chozen Becky (mu katono), Iryn Namubiru, Maureen Nantume, Stabua Natooro, Carol Nantongo, Spice Diana n’abalala. Okuyingira 10,000/- buli muntu. Wajja kubeerayo n’empaka z’ani asinga obuwanvu, asinga obubi n’omwana asinga okwavula. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.