Eyeekakasa obubi ajje mu Kyepukulu anvuganye

By Musasi wa Bukedde

Entebe teweekayo, ne Godfrey Baguma (alina engule ya Ssebabi okuva mu 2013) akangazza n'ayita oyo yenna alowooza nti amusinga obubi ajje bavuganye balabe akira mu kivvulu kya 'Ekyepukulu Ani Asinga 2019' nga August 4,2019 e Wankulukuku

Ssebabiwaugandanekaperewebuse 350x210

Bya Musasi Waffe

Mu bbinu lya ‘‘Ekyepukulu Ani Asinga 2019’’, wagenda kubaayo empaka z’omuntu asinga obubi mu ggwanga. Godfrey Baguma alina engule ya Ssebabi okuva mu 2013, olwalabye akalango ku ttivvi n’akuba emmeeza. Ani ategese ebintu ebyo nga tanneebuuzizzaako. Eyo engule yange era sigita okutuusa nga nfudde.

Naye bwe wabaayo omusajja oba omukazi alowooza nti ansinga obubi ajje mu kisaawe e Wankulukuku nga August 4, 2019 tuvuganye alyoke ategeere ekibonerezo kyendiko. Bwe banaamala okulonda ssebabi bagenda kulonda omusika wa Ofwono omusajja eyali asinga obuwanvu mu ggwanga. Kuno baakuzzaako empaka z’omwana asinga okwavula n’oluvannyuma basumulule omuziki okuva mu bayimbi ab’enjawulo okuli: David Lutalo, Sheebah Karungi, Chozen Becky, Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu, Haruna Kitooke, Kazibwe Kapo n’abalala okuzibya obudde. Wagenda kubeerayo n’okuvuganya wakati w’abayimbi abakazi n’abasajja ng’abawanguzi baakufuna engule.

Omutegesi w’ekivvulu kino Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abtex yategeezezza nti kino ekivvulu bakyongeddeko erya Musanyusa kubanga okuva lw’oyingira ekisaawe okutuusa lw’ofuluma ogenda kuba mu nseko, okusala ddansi, okulya n’okunywa ku 10,000/- gokka. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.