Nakakande enzaalwa y'e Bombo awangudde obwa Miss Uganda 2019/20

By Martin Ndijjo

Nakakande enzaalwa y'e Bombo awangudde obwa Miss Uganda 2019/20

Missugfinalndijjo95 350x210

“N’OKUTUUSA kati sikikkiriza nti nze awangudde engule ya Miss Uganda kubanga abawala bwe tuvuganyizza bonna babadde balungi nga bagezi ate ne mu nkambi gye tubadde nga beeyisa bulungi.

Bantadde ku bunkenke naddala bwe tutuuse ku mutendera gw’okuddamu ebibuuzo kubanga zino empaka tebatunuulira ndabika ya muntu yokka wabula n’ekyo ky'asobola okukola (beauty with purpose) ate nga waliwo n’abamu obwedda be bakubira enduulu ey’omwanguka okubasiima naye ndowooza Mukama Katonda y'antuuzisa ku buwanguzi buno,” bw'atyo Oliver Nakakande, 24, eyawangudde engule ya Miss Uganda 2019/2020 bwe yategeezezza Bukedde amangu ddala nga yaakalangirirwa ku buwanguzi buno.

Nakakande muyizi ku Middlesex University e Dubai (asoma ddiguli mu by’obusuubuzi) era eyeetisse omugugu omunene okudda mu kifo kya Abenakyo olw’ebyafaayo by'akoze, yasiitaanye okuwangula banne 21 bwe babadde bavuganya ku mukolo ogwabadde ku Sheraton Hotel ku Lwokutano ekiro.