Ssente z'ekyepukulu zaakuyamba basibe - Abtex

By Musasi wa Bukedde

Abategesi b'ebivvulu Abbey Musinguzi owa Abtex Productions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events basazeewo ssente zonna ezinaava mu Kyepukulu Ani Asinga 2019 okukozesebwa okuggya abasibe mu makomera abaasibwa olw'obutaba na ssente za ngassi wakati wa 10,000/- ne 500,000/-.

Abtexmusinguzi2aaa 350x210

‘‘ABASIBE abasinga abali mu makomera agasinga mu Uganda si babbi, si batemu oba nti bazza emisango egitiisa. Bwavu bwe bw’abatuusa mu nkomyo abamu ne batuuka n’okwerabirwa famire zaabwe’’. Okunoonyereza kuno kwakoleddwa Ssaalongo Andrew Mukasa owa Bajjo Events ku nnaku ze yamala mu nkomyo ku misango gy’okuvvoola n’okugezaako okunyiiza omukulembeze w’eggwanga.
Bajjo olwavudde mu kkomera ne batuula ne Abbey Musinguzi owa Abtex Productions ne basalawo nti ssente zonna ezigenda okuva mu kivvulu kya ‘‘Ekyepukulu Ani Asinga 2019’’ zigenda kukozesebwa okununula abasibe abali mu kkomera olw’engassi. Abtex yagambye nti waliwo abantu abakwatibwa mu busango obutaliimu nga obwakireereese, okutundira ebintu ku nguudo, okwekalakaasa n’ebirala. Bwe babatuusa mu kkooti babasaba engassi eri wakati wa 10,000/- ne 500,000/- kyokka nga tebazirina ne babasindika mu nkomyo gye bavundira n’okutuusa kati.

TUTANDIKIRA MU KAMPALA
Abtex ne Bajjo baategeezezza nti olumala ekivvulu kino ku Ssande, batandikira mu makomera g’omu Kampala n’emiriraano n’oluvannyuma bagende mu bitundu ebirala. Yasabye buli muntu akwatibwako okubeegattako okutaasa abantu bano.

EKYEPUKULU ANI ASINGA MU
KISAAWE E WANKULUKUKU
Abtex ne Bajjo abaasangiddwa ku Magic Parking mu Kampala baategeezezza nti enteekateeka z’ebbinu lino erigenda okubeera mu kisaawe e Wankulukuku zigenda mu maaso. Siteegi yazimbiddwa dda nga n’abayimbi bali mu kuwawula maloboozi batuuke ku Ssande ng’amaloboozi gali katebule. Emiryango giggulwawo ku ssaawa emu ey’oku makya ng’era buli ayingira agenda kubeera muwanguzi kubanga waliwo empaka nnyingi abantu ze bagenda okuvuganyako.
Okuyingira 10,000/- buli muntu era ggwe anyumirwa omuziki kye kiseera okwawula ssente z’entujjo eno mu z’enva anti ya Ssande eno nga August 4, 2019.

Ebirala birinde mu Sanyuka ne wiikendi ku Lwokutaano.