Ragga Dee awanda muliro

By Musasi wa Bukedde

Ragga Dee y’omu ku bammemba ku lukiiko lwa UNCF. Yasanyukidde ekyakoleddwa okuyimiriza abakungu ba UPRS n’agamba nti baalwawo dda.Mmaze emyaka 29 mu kuyimba kyokka sifunanga yadde ekikumi okuva mu UPRS.

Raggadeekarugire1 350x210

RAGGA DEE y’omu ku bammemba ku lukiiko lwa UNCF. Yasanyukidde ekyakoleddwa okuyimiriza abakungu ba UPRS n’agamba nti baalwawo dda.

“Nze bulijjo nneebuuza Wasula ne banne kye bakola mu UPRS nga sikiraba era bwe kiba kisoboka tebabakomyawo. Mmaze emyaka 29 mu kuyimba kyokka sifunanga yadde ekikumi okuva mu UPRS.

Kati nze Ragga Dee bwe mba mbdde sifuna ssente zino ani azifuna? Ye bazisolooza batya era bazigabanya batya mu bantu abalina okuzifuna? Bulijjo tulwaza n’okufiirwa abayimbi nga tebalina yadde ez’obujjanjabi kyokka ng’aba UPRS tebavaayo kutuyamba.

Gye buvuddeko abooluganda lwa Moze Radio beemulugunya ku busente obutono obw’abaweebwa ku lw’omugenzi ng’ate ennyimba ze zikyakola bulungi.  Ragge Dee agamba kye kiseera akakiiko ka UPRS konna okuyiibwa baddemu okulonda kubanga n’abaliko nga Dr. Tee ssentebe waakifaananyi.

Ebirala bisange mu Sanyuka ne wiikendi ku Lwokutaano.