Rwakataka yejjeerezeddwa emisango gy'obutemu: Ajaganya

By Musasi wa Bukedde

Kafulu mu kuvulumula mmotoka z'empaka, Ponsiano Rwakataka asimattuse akalabba kkooti bw'emwejjeerezza egy'obutemu

Rwakatakacase1 350x210

PONSIANO Rwakataka asimattuse akalabba kkooti enkulu e Masaka bw'emwejjeerezza egy’obutemu.


Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka, John Eudes Keitirima ng’awa ensala ye agambye nti obujulizi obwaleetebwa mu kkooti tebulumika Rwakataka nti yeetaba mu kutta abantu.

 

Abadde ku misango gy’okutta abantu 9 abattirwa e Kyebe - Rakai mu Junuary wa 2013. Abattibwa kuliko: Pastor Steven Mugambe  eyali akulira  ekkanisa ya Kyebe Pentecostal Church ne Noelina Nalinya.

 

Abalala ye; Bena Nakivumbi, Jane Nakiwala, Max Nakirijja, Maria Namatovu, Christine Namuleme, Dan Kazibwe ne Andrew Ampeirwe  okuva e Jinja .

 

Rwakataka olwamala okumweyimirira ku misango gy’okukusa obwennyanja obuto e Kaliisizo mu July wa 2014, abaserikale ne bamukwata ne bamukwata n'atwalibwa e Masaka n'aggulibwako egy’obutemu.

 

Abadde avunaanirwa wamu ne Emmanuel Zinda naye eyejjeerezeddwa wabula Muddu eyakkiriza okwetaba mu kutta era eyali alumiriza Rwakataka ye asibiddwa mayisa.