Ku myaka 21 olowooza nkyali muto !

By Musasi wa Bukedde

Muntu ki gw’osinga okwenyumirizaamu? Njagala nnyo maama wange kubanga abaddewo nnyo ku lwange mu bulamu bwange bwonna.

Kuba 350x210

Nga kyamukisa okukusisinkana?

Nnze nsinze ssebo. 

Naye ng’olabika ng’omwana omuto?

Sshhhaaa leka naawe emyaka 21 ku mukazi mbeera muto?

Obeera wa?

Mbeera Buziga mu zooni ya Kirudu.

Mpozzi amannya gwe ani ?

Nze Shifah Mugabire yadde ng’abasinga bamanyi lya Kotish.Eehhh!! ate Kotish ge galiwa ago.

Gategeeza ki?

Ky’ogamba tompulirangako? Eryo erinnya lye nkozesa nga ndi ku siteegi nnyimbira abawagizi bange.

Ky’ogamba oli muyimbi?

Ye ssebo ndi muyimbi muto era nga nninayo obuyimba obuwerako.

Oyimba nnyimba kika ki?

Ez’omukwano, eza Dance Hall ne Afro Pop. 

 

Ze ziruwa ezo?

Kukologa, Number emu, To night, we Rock n’endala.

Kati oli bw’aba akwagala akusanga wa?

Ntera okukasibira wali ku Cyclone e Kansanga buli lwa Mmande.

Osinga kunyumirwa ki mu biseera byo ebyeddembe?

Njagala nnyo okucakalako n’emikwano gyange, okulaba firimu n’okuwuga.

Osinga kuwoomerwa mmere ki?

Amatooke n’ennyama.

Muyimbi ki gw’osinga okwegomba singa oba oweereddwa omukisa okukola naye?

Njagala nnyo Irene Ntale ne Ziza Bafana.

Muntu ki gw’osinga okwenyumirizaamu?

Njagala nnyo maama wange kubanga abaddewo nnyo ku lwange mu bulamu bwange bwonna.