Anjagala nsanga ku Facebook

By Musasi wa Bukedde

Eeeh maama, kati olwo? Awulira ng’alina ensonga ddala gyanneetaaza tasobola kulemwa kuNfuna ku mutimbagano gwa ‘facebook’ mu mannya “Faria Love Beibe” Osinga kwagala ani mu bulamu bwo? Nsinga kwagala muwala wange ow’omwaka ogumu n’ekitundu gwe nnina yekka ku nsi.

Kikazi1 350x210

Maama, nga feesi nninga gye mmanyi, oli omu ku basereebu be mpulira?

 

Munnange siri wadde nnange nneegomba Cindy.

 

Ononsonyiwa okukubuuza, naye anti basereebu be mmanyi abeekolako ennyo okulaba nga bakuuma figa zaabwe.  Ggwe okikola otya?

 

Oba nkugambe ki? Nze no figa eyange nzaale. Sibuuka kyamisana wadde kyaggulo kyonna. Neeriira buli kye njagala.

 

Olwo figa ogisigaza otya ng’olya buli kimu?

 

Sirya kisukkiridde mpozzi okukolayo ku dduyiro annyamba ku lubuto obutabunduka.

 

 

Ekituufu onkubye. Naye.. singa omuntu oba nze kennyini  njagala okusigala nga nkuwuliza kiba kitya?

 

Ennamba yange  simala gagigaba bwentyo eri buli gwe nsanga.

 

Eeeh maama, kati olwo?

 

Awulira ng’alina ensonga ddala gyanneetaaza tasobola kulemwa kuNfuna ku mutimbagano gwa ‘facebook’ mu mannya   “Faria Love Beibe

 

Osinga kwagala ani mu bulamu bwo?

 

Nsinga kwagala muwala wange ow’omwaka ogumu n’ekitundu gwe nnina yekka ku nsi.

 

 

Kitundu ki ky’osinga okwagala ku mubiri gwo?

 

Amazima njagala nnyo emimwa gyange.

 

Lwaki mimwa?

 

Buli we mpita, abasajja bagitenda. Bagyogerako nga bwe gyakula obulungi.

 

Abasajja b’oyitako okugitenda kye kikulowoozesa nti ddala misuffu?

 

Wano sirina wa kukujuliza, mpozzi taata w’abaana.  Y’agimanyimu ekyama anti buli lw’aba ng’eyeecanga, ekimu ekimuzza, ‘mimwa’ gy’agamba nti gimukuba.