Abasajja batunuulira nnyo amagulu gange

By Musasi wa Bukedde

Bisaanyizo ki by’oyagala ku musajja? Njagala ng’ayimiridde...naawe obitegeera, ηηamba mu by’ensimbi. Ate singa abeera muddugavu ekyo kinkolera, saagala musajja mweru kuba nange ndi mweru

Ntuusa1 350x210

Singa nze ggwe nandyambadde langi nzirugavu yokka.

Ate lwaki?

Akateeteeyi ako kakunyumidde ne kasukka!

Weebale kusiima kubanga langi eyo y’esinga okunkolera.

Bwe nzija ewamme nga nkwetaaga mbuuza ani?

Kasita obuuza Jackie toyinza butanfuna.

Ky’ogamba bamanyi limu, leka naawe nnina okumanya amannya gombi.

Kale obuuza Jackie Kateme.

Ndagirira n’ekifo gy’obeera nneme kubula.

Onsanga Makindye ku luguudo lw’e Salaama.

Ow’ewuwo bw’anansanga tankube?

Twala eri, nze sirina musajja, mbeera ne mmami wange. Omusajja yenna anneetaaga alina kusooka kukyala waffe ne bamumanya.

Bisaanyizo ki by’oyagala?

Njagala ng’ayimiridde...naawe obitegeera, ηηamba mu by’ensimbi. Ate singa abeera muddugavu ekyo kinkolera, saagala musajja mweru kuba nange ndi mweru.

Okola mulimu ki?

Nnina edduuka eritunda engoye z’abakazi n’engatto.

Ebiseera byo eby’eddembe obimala otya?

Nga mpuliriza ennyimba, kwe ngatta n’okuyimba. Tolaba ng’onsanze ngezaako kuwawula ddoboozi?

Abasajja abatera okukutawaanya obagamba ki?

Mbaloopa wa mmami ate mukambwe.

Bw’oba osazeewo okunkyalira nkufumbira mmere ki?

Ettooke nga liboobedde n’ekinyeebwa ekisibire mu bookisi tebinkola bubi.

Eyo ttatu gy’olina ku kugulu etegeeza ki?

Esikiriza buli agirabako era abasinga tebaggya maaso ku magulu gange. Tolaba naawe era otunuddewo...!