Omukwano oluusi gunkaabya

By Musasi wa Bukedde

Ate ‘love’ yakukaabizza etya? Wabula ekyo sandyagadde kukyogerako, naye era nga bw’obimanyi nti mu mukwano mubaamu amaziga n’essanyu.

Kyana 350x210

Bagamba obulungi kwefaako naye ndowooza ggwe weefaako n’oyitawo?

Munnange ensangi zino okwefaako kya tteeka eri buli mukyala.

Bw’ombuulira ku mannya go ne gy’obeera ne mmanya gwe njogera naye?

Nze Prossie Nabukenya nga mbeera mu Ndeeba.

Akukuuma wamulese ali atya?

Hahaha ninayo omuntu wange naye wa kyama.

Kirabika olina bangi, lwaki ogamba nti wa kyama?

Ndeka nze oyogala mwogere abawala b’e Kampala bamuntwaleko. Engeri gye bandaba nga nyirira bayinza okumuyigga, kisingako ne mmusirikira.

Ky’ogamba y’akunyiriza bwatyo?

Obuuza ky’olabako.

Wasemba ddi okukaaba ?

Haaa jjo jjuuzi wano nakaabye naye ng’ekinkaabya, Loveee..

Ate ‘love’ yakukaabizza etya?

Wabula ekyo sandyagadde kukyogerako, naye era nga bw’obimanyi nti mu mukwano mubaamu amaziga n’essanyu.

Muntu ki gwe wandyagadde okukaddiwa ng’akuli ku lusegere?

Maama wange, Gorreti Nassali ne Taata wange Samuel Kalule buli lunaku nsaba Katonda abawangaaze nkadiwe nga nkyabalabako.

Olowooza lwaki ensangi zino abawala abato beegumbulidde omuze gw’okugenda mu basawo b’ekinnansi mu kifo ky’okugenda mu kkanisa?

Kibi nti abawala abato tebakyatya Katonda, ate nga tebalina na bugumiikiriza. Basalawo okugenda mu masabo okwanguyizibwa mu bye baagala, naye nga Katonda y’asinga byonna era nneebaza bazadde bange abanjigiriza eddiini.

Figa yo ogikuuma otya?

Nze ndi muzinyi mu kibiina kya katemba ekya Ebonies era omulimu gwange gwe gunnyamba okukuuma ffi ga kuba buli lwe mbiibyamu mbeera nkola dduyiro.

Bubaka ki bw’owa bawala banno abatalina bugumiikiriza ?

Ensi yeetaaga bugumiikiriza buli lw’oyagala eby’amangu tojja kuwangaala.