Ndi muto mu by’abasajja

By Musasi wa Bukedde

Shaa, naye abawala mwayiga awo kati nga ggwe oyinza otya obutabaayo na munno? Munnange eby’abasajja nkyabitaddeko nnatti.

United 350x210

MWANA ggwe wakomyewo ddi?

Ate okuva wa?

E Gabon, nzijukira nakulaba ku ttivvi nga mulaba ogwa Uganda Cranes e Gabon.

Wabula weetegereza, navaayo dda nnyo, mwebale kutusabira.

Anti ekimuli buli we kibeera bakiraba, kati ovaako wa?

Owange, simanyi bakusasudde?

Nedda nnyabo nze ndi wa lugambo gwe bayita ow’amawulire, kati nno mbuuliraako gy’obeera.

Mbeera waka.

Wabula okimmazeeko, abakyala abalungi tebaba bakambwe naawe...

Kale mbeera Lubaga.

Olwo bwe ntuuka e Lubaga noonya ani?

Obuuza Esther Kisakye.

Okola mulimu ki?

Ndi cashier mu supermaket emu mu Mengo.

Kati nno ofunye kasitoma ataakusabe bbaalansi, ali atya asula ng’akuttira ensiri mu kiro?

Oyo sinnamufuna nkyazeekubira.

Shaa, naye abawala mwayiga awo kati nga ggwe oyinza otya obutabaayo na munno?

Munnange eby’abasajja nkyabitaddeko nnatti.

Yiii, lwaki?

Anti omukwano kiyungu ate sinnayagala kuwunya mukka, na kukaaba.

Ky’ogamba wayingiramu ko n’okivaamu?

Nedda mbirabira ku mikwano gyange.

Ky’ogamba okyali talatibu?

Akabuuza ggyako, sirabangako.

Bagamba mwe mutera okuba ababisi mu kisenge.

Ekyo ndowooza ya ssekinnoomu naye nze mmanyi mbitegeera.

Ate nno nange nnoonya wa kutwala waka anfumbire.

Musajja wattu oyinza okutomera kuba ebyange bya mpolampola.

Kati ebibyo bitwala bbanga ki okutuuka okukkiriza?

Kisinziira obukodyo bw’akozesa kati ggwe obwo obubwo omwaka guyinza obutaba munene.

Kale mpa ku nnambayo ey’essimu kwe naakukubira nga nfunye obukodyo obulala.

Ennamba teyeetaagisa gwe buli w’oneetaagira oteegera wano ku budde bwe buti.