Mwana muwala alaze ebisinga okumunyiiza ku basajja

By Musasi wa Bukedde

Mwana muwala alaze ebisinga okumunyiiza ku basajja

Bab1 350x210

Nnyabo wamma nsonyiwaamu katono, wano we wa ssentebe w’ekyalo oba mbuze?

Nedda ssebo weeyongereko mu maaso eyo.

Ofaayo kale bw’omperekerako n’ontuusaayo kuba ntyayo baηηambye waliyo embwa enkambwe?

Owange, toba kunsanga wano ewa ssentebe tewandigenze?

Omuwala omulungi takambuwala bwatyo, kale ntuusaako wali ku lusuku weekomerewov

Kati ggwe nkulaba olina ekikuwujja, beera awo kammale okusumulula embwa zaffe.

Maama bireke mbadde nsaaga, ekituufu sinoonya ssentebe, nzize nga njagala kumanya mu Ggulu eyo bamalayika banno bakuyita linnya ki?

Hmm, nze Racheal Namiiro, mbeera Makindye so si mu Ggulu.

Haaa koma awo, wamma bituufu bye baboogerako nti abawala b’e Makindye muli basezi temusula mu nnyumba?

Nze ng’omuntu ndi muyimbi era kye kinsuza ebweru abalala simanyi mirimu gyabwe.

Ee, simbawo akati oyimbira wa eyo gye ηηenda okujjanga okukulabangako wekka?

Nnyimbira mu kibiina kya Da Nu Eagles ekya Geofrey Lutaaya.

Ntwala mpola siwulidde bulungi, ogambye wayimba buyimba ki mpozzi?

Nze nayimba ηηenderaayo ne Katambala.

Naye wamma bituufu oba babawaayiriza nti abayimbi mwe mukyasinze obwenzi mu ggwanga?

Anti omulya Mmamba abeera omu n’avumaganya ekika kyonna naye nga nze ebyo sibikola.

Muze ki abasajja abakukwana gwe balina ogwakutama edda?

Nze mu balamu bwange saagala musajja ansiiya, mpulirira ddala ng’antabula.

Nnyumizaako wamma, ssinga tewali muntu wandyegombye kubeera kinyonyi ki?

Nandyegombye kubeera kasuku kubanga kagezi okuzaama.

Kaakati ggwe ng’omuyimbi, kiki ekisinga okukunyiiza ku bayimbi banno?

Abayimbi abawemula n’abateewa kitiibwa bantabulira ddala.

Muyimbi ki omukyala gw’otoayinza kuzibya lunaku nga towulidde ku ddoboozi lye?

Joanita Kawalya bannange ankolera.

Omuntu bw’aba ayagala okuwulira ku ddoboozi lyo, akukubira ku kasimu nnamba ki?

Obuyimba bwange gye buli mu maduuka agatunda ennyimba ajja kumpulira.