Mwami wange asusse obulogo

By Musasi Wa

OMWAMI wange yayiga omuze gw’obulogo. Yatandika mpola ng’agamba nti akola ku bintu by’ewaabwe. Naye kati asiiba mu masabo buli kintu agamba bamuloze. Nze ndi mukyala munnaddiini era sisobola kutambulira mu ddogo nkoze ntya? Ngezezzaako okusaba n’okubuulira baganda be naye bigaanyi. Kati kumpi buli



 OMWAMI wange yayiga omuze gw’obulogo. Yatandika mpola ng’agamba nti akola ku bintu by’ewaabwe. Naye kati asiiba mu masabo buli kintu agamba bamuloze. Nze ndi mukyala munnaddiini era sisobola kutambulira mu ddogo nkoze ntya? Ngezezzaako okusaba n’okubuulira baganda be naye bigaanyi. Kati kumpi buli kintu ekyali mu maka akitunze ng’aloga. Nkole ntya? Nnina abaana basatu ate bakyali bato. 

Mwana  wange obulogo nga  buzibu naddala bwe gufuuka omuze. Omuze gwonna kasita gukula era oluusi kiba kizibu okuguggyawo.

Omwami wo w’atuuse ye kennyini y’ayinza okweggyamu omuze guno. Abaana b’ozadde nabo singa basigala mu mbeera eno bagenda kuyiga okuloga ate nga tekibayamba.

Abaana bano bwe bakula, be bantu b’osanga nga tebasobola kukola okuggyako okukola abalala obubi. Waliyo emize nga tosobola kugigumiikiriza.

Obulogo, obusezi, obubbi , obutamiivu, obutemu, obwenzi, omukubi, gye gimu ku mize egyo. Ate bw’oba tolina mirembe na ssanyu si kyamagezi kusigala mu mbeera eno obulamu bwo bwonna ate ng’okoze ekisoboka okuyamba balo.

Weesalirewo naye nze ndaba olina mulogo si mwami.

 

Mwami wange asusse obulogo