Nnyazaala yannemya obufumbo

By Musasi Wa

NNYAZAALA wange yannemesa omusajja wange n’ansubya obufumbo. Nze Jane Namanda. Mbeera Matugga.

2014 2largeimg213 feb 2014 112324827 350x210



NNYAZAALA wange yannemesa omusajja wange n’ansubya obufumbo. Nze Jane Namanda. Mbeera Matugga.

Baze twava wala nga twagalana okutuusa bwe twasalawo okukola amaka tusobole okubeera mu bulamu obw’obufumbo.

Yantwala mu maka ge agasangibwa e Matugga ne tutandika okubeera awamu.

Obufumbo okusooka bwali bututambulira bulungi kuba omwami wange yali tanjuza mu bintu ebisinga obungi.

Yali amanyi omukwano era ng’ebiseera ebimu amanyi okungiyiiza obulabo n’okukola ku byetaago byange.

Bino saabimanyirawo nti bisobola okunviirako obuzibu n’abantu abamu okukwatirwa ensaalwa.

Embeera z’omwami wange zaatandika okugenda nga zikyuka mpola oluvannyuma lwa nnyazaala wange okweyingiza mu nsonga z’amaka gange.

Twali tubeera ku kibanja kya nnyazaala wange ekimu era nga ebiseera ebisinga tubeera wamu.

Nnyazaala wange embeera ze zaatandika okukyuka bwe yasalawo okunsiiga enziro ng’agenderera okuttattana erinnya lyange eri omwami wange.

Teyakoma awo yanjogerera ebigambo n’okugamba nga bwe sisaanidde kubeera na mutabani we.

Okumanya ensonga zaali zigenze wala, olumu yannumba mu maka gange ng’agenderera okunzigulako olutalo kyokka ne mwebalama era teyasobola kutuukiriza kigendererwa kye.

Nagenda okulaba nga sigenda kumalako na mbeera kwe kusalawo okuviira omusajja ne nzira ewaffe okutandika obulamu obupya.

Obufumbo bwaffe twabumalamu emyaka musanvu ne tufuniramu n’ezzadde.

Nnyazaala yannemya obufumbo