Ebizibu 10 by’ofuna mu kukozesa ebiragalalagala

By Musasi wa Bukedde

Mu bintu bye bakozesa mwe muli; enjaga, amayirungi, amafuta g’ennyonyi, Sisha, sigala n’empeke za ‘Viagra’ nga bagamba nti bibongera amaanyi n'obwagazi.

Nansa 350x210

KY’OYAGALA kikuseeza. N’abavubuka ennaku zino bettanidde okukozesa ebiragalalagala nga baagala okufuna amaanyi g’ekisajja.

Mu bintu bye bakozesa mwe muli; enjaga, amayirungi, amafuta g’ennyonyi, Sisha, sigala n’empeke za ‘Viagra’ nga bagamba nti bibongera amaanyi n'obwagazi.

Wabula ebintu bino bw’obyemanyiiza, bikosa omubiri.Buno bwe bumu ku bulabe obuli mu kukozesa ebiragalalagala.

1 Bisuulira ddala eddalu era y’ensonga lwaki abavubuka abamu omuli n'abayimbi batwalibwa e Butabika nga tebakyategeera ng’eno gye babajjanjabira ne batereera emitwe.

2 Ebiragala bino bisindiikiriza abavubuka okwetaba mu bikolwa ebikyamu nga okubba, okulwana kubanga baba beewulira eryanyi era bangi batankuula entalo batere bakozese amaanyi gano. Kyokka amaanyi gano baba bageewulira naye nga tebagalina.

3 Abawala bibaviirako okufuna embuto ze bateetegekedde anti olubinywa ne bibatamiiza, omusajja asobola okumukola kyonna kyayagala nga ye (omuwala) tamanyi.

4 Binafuya obwongo, omuntu n’aba nga tajjukira bintu byabaddewo ng’ebiragala bino bimugenze ku mutwe.

5 Biremesa abavubuka bangi okusoma anti ekiseera kituuka nga buli kadde omwana by’ayagala. Okugeza, bw’aba munywi wa njaga, buli kadde gy’aba ayagala olwo eby’okusoma ne bimutama. Abamu bibatabula emitwe ne bataddiramu ddala kusoma ate abalala bagobwa mu masomero olw’okukozesa ebiragalalagala.

6 Ebiragala bino era bitta omukwano. Bwe bikugenda ku mutwe, oyinza okwekola obusolosolo munno n’akwetamwa. Biyinza n’okukuwa amaanyi n’omukuba bubi nnyo, era okukkakkana nga mwawukanye.

7 Endwadde z'ekikaba nga kw’otadde ne siriimu zisaasaanyizibwa nnyo abavubuka abakozesa ebiragala bino kubanga bwe bibalinnya ku mutwe, bakola buli kimu awatali kutya. Abamu batuuka ne ku ssa ly’okunyumya akaboozi mu kirindi, ne beesaaba obulwadde.

8 Obubenje bungi buva ku kunywa biragalalagala. Omuntu bw’abikozesa, obwongo bwe buva mu mbeera era baddereeva ababyettanira bavuga ndiima awatali kugambwako, ekivaamu obubenje.

9 Bitta ekyagala okulya emmere oli n’aba nga by’ayagala okunywa byokka. Kino kivaamu okulwala endwadde ezeekuusa ku ndya embi, okukkakkana ng’omuntu abafuddeko.

10 Byonoona amaka era bitta n’enkolagana wakati mu bantu kuba omuzadde ebiseera ebisinga bw’ategeera nti omwana we akozesa ebiragala afuba okubimuggyako wabula bw’abiremerako, abazadde abamu bagoba abaana awaka.

Omukugu awabudde

Nalwoga bernah omukugu mu kubudaabudda abantu ku goodlife medical center agamba:
“Ebiragalalagala bibi kuba bitaataaganya enkola y'obwongo omuntu ne yeesanga ng’oluusi akoze ebintu by’atasobola kukola ng’ali mu mbeera entuufu.

Bwe kisanga abavubuka ab’effujjo, bakola ebintu ebyonoona obulamu bwabwe oluvannyuma ne babyejjusa nga tewakyali kyakukola. Abamu bibawaliriza okwegatta n'abantu be bateekakasa mbeera ya bulamu bwabwe.

Nkubiriza abavubuka mwewale ebikoosi kuba bye bisinga okubasindiikiriza mu kukozesa ebiragalalagala. Ggwe atannabitandika, totawaana okubigezaako kubanga tebiriimu kalungi konna.