Ebifo abavubuka ba Dot. Com gye banyumiza akaboozi biwuniikiriza!!

By Musasi wa Bukedde

‘OLW’OLUMU yiiya ndye ku katogo... lwa butakafumba mbadde nkamanyi...’ Ebyo bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Lord Fred Ssebatta olumanyiddwa nga ‘Maama Mirembe.’

Bera1 350x210

‘OLW’OLUMU yiiya ndye ku katogo... lwa butakafumba mbadde nkamanyi...’ Ebyo bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Lord Fred Ssebatta olumanyiddwa nga ‘Maama Mirembe.’

Mu luyimba luno, omwami alaga obutali bumativu olwa mukyala we okumuliisanga emmere ennyige buli kadde.

Omwami ono aba tasaba kulya ku katogo ka muwogo n’ebijanjaalo, nedda! Asaba mukyalawe ayongere ebirungo mu laavu yaabwe, akaboozi bakanyumye mu ngeri ez’enjawulo buli lunaku, kabawoomere era bakeesungenga.

Abavubuka bakoppye ebiri mu luyimba luno nga kati akaboozi bakaggye mu kisenge ne bakatwala mu bifo eby’enjawulo.

Ndowooza eno y’emu ku nsonga esikiriza abantu abakulu okunyumya nabo. Loogi bwe zaasazeewo okuleega ebisale, kati abavubuka banyumiza mu bifo ebitakkirizika nga mulimu;

Mu nsiko:

Eno abavubuka bettanirayo ennaku zino nga bagamba nti teri kusasula ate tewaba bireekaana. Eno tebeetaaga kitanda wadde omufaliso, bakozesa ngoye zaabwe ze bayalawo olwo emikolo ne gigenda mu maaso.

Eno banyumirwayo nnyo era bagamba tewaba akuwulira ate watuukiriza n’enjogera egamba nti ‘oli mugumu ng’asula wansi!’

Okumanya eno wanyumisa ebintu, amaloboozi g’obunyonyi n’ebitonde ebirala ebisiiyasiiya bwe geegattamu, wamma munyumirwa ne muvaayo nga buli omu amatidde. Ate eno ne bw’oba wakima amazzi n’ogaweza, tewabaawo kikugaana kugawa ku munno.

Mu ddiiro:

Kano kaasusse kubanga kayamba okukozesa sitayiro ez’enjawulo okusinziira we munyumirizza.

Okugeza muyinza okunyumiza mu ntebe, ku kisenge oba wansi ne zidda okunywa. Kyokka wano omukazi bw’aba yakima amazzi n’agaweza, muyinza okumaliriza nga mwanise entebe!

Akaboozi k’omu ntebe ko kaayitiridde anti kayamba okukola sitayiro ezinyumisa ekigwo. Kyokka wano mulina okwekuumisa enkumbi muleme kutobya ntebe kubanga si zammwe, za bagenyi.

Effumbiro:

Lino terifumba mmere eriibwa yokka wabula mukyayinza n’okulifumbiramu mu ngeri endala. Eno muyinza okuliirayo nga muyimiridde, nga mwesigamye, mutudde, okukutama oba n’okusitama.

Ggwe kisinziira ku ngeri gy’osiimye okulyamu kyokka mu buli ngeri onyumirwa. Ate bwe liba effumbiro lino erirongooseemu, emboozi egwa amakerenda anti omuwala omuteeka wano awasalirwa ebirungo n’olya nga bw’oyagala, ne kiggweera awo.

kyabadde kitya akuddamu kimu nti kyawoomye! Eno osanga emigogo gy’abavubuka nga buli omu anyumya n’owuwe awatali afaayo ku balala.

Kaabuyonjo:

Eno nayo bafunirayo essanyu era okwanguyirwa balya bayimiridde. Mu bbaala nayo kiggweerayo, eno beesigama ku kisenge ky’ebbaala ne beggweera. Abamu beefuula abeereze naye nga mu mazima baba bali wala.

Ku bbiici:

Eno waayitiridde kubanga baanabalenzi abaalya omulondo ne gubanoga, baliira mu nnyanja mwennyini. Oli yeefuula awuga n’omuwala naye ng’amazima awoomerwa ddubi. Abalina emmotoka bo baliira omwo.

Bernah Nalwoga omukugu okuva ku Goodlife Medical Center agamba: ‘Newankubadde abavubuka banyumiza akaboozi mu bifo nga bino, ekikulu buli omu kumanya munne bw’ayimiridde mu mbeera z’obulamu.

Kino kitwaliramu okwekebeza endwadde ez’ekikaba kuba ebiseera ebisinga beerabira okukozesa kondomu.

Nkubiriza abavubuka obutamala geegatta na bantu be basanze eyo, nyumya n’omuntu gw’omanyi. Ate temunyumiza mu bifo ebinaabaswaza nga babasanze naddala nga mulina abaana awaka.

Kapeti nayo ewoomesa emmere era abavubuka bagyeyagalirako nnyo. Wano mulya mu ntuula yonna gye mwagala ne muvaawo nga musiimye.

Ebivvulu ebitegekebwa nabyo abavubuka bwe basiimaganirayo, tebadda mu bya jjo jjuuzi, kiggweera awo.

Eno abawala babaganzika mu busonda, emabega wa siteegi ne wansi waayo era oli bw’omubuuza nti ekivvulu kya gundi