Lwaki weetaaga okuwa omwagalwa wo obudde n’abeerako ne bakazi banne

By Musasi wa Bukedde

Ennaku zino bw’ogendako mu bifo ebisanyukirwamu omuli bbiici, mu bbaala, kiraabu, ebifo omulagibwa emizannyo oba mu bivvulu by’ennyimba osanga abakyala n’abawala nga bali bokka balya bulamu.

Prossy1 350x210

KUBAMU akafaananyi nga mukyala wo akomyewo okuva ku mulimu n’asuulamu akateeteeyi akamuggyayo ffiga, yeekubye ddikini, asuddemu akagatto ke wamugulidde ku mazaalibwa ge agaakaggwa, yenna anyumye okukamala n’akutegeeza nti, “mukwano tugendako kucakala ne mikwano gyange abawala, abaana obabikka..”

Oyomba, omugaana oba omuleka n’akola nga bw’ayagadde. Abasajja bangi kino tekibayisa bulungi kuba aba alaba ng’omukazi amuyisizzaamu olugaayu.

Ennaku zino bw’ogendako mu bifo ebisanyukirwamu omuli bbiici, mu bbaala, kiraabu, ebifo omulagibwa emizannyo oba mu bivvulu by’ennyimba osanga abakyala n’abawala nga bali bokka balya bulamu.

Abalala obasanga ne bakyala bannaabwe nga bali mu bibiina mwe bakolera bizinensi, ebya munno mu kabi n’ebigatta abakyala ab’enzikiriza emu oba okusukkawo okugeza ebya Mothers’ Union.

 

Edda tekyabanga kya bulijjo okuyingira ebbaala n’osanga omuwala oba omukazi ng’atudde ku katebe ali ku kawunta awunzika eccupa za bbiya ng’ali bwannamunigina oba ng’ali ne muwala munne. Era abaakikolanga nga batwalibwa okuba bano ‘abasamba ogw’ensimbi’.

Naye mu biseera bino, abawala n’abakazi omuli n’abafumbo bakola pulogulaamu z’okwesanyusa nga tebeebuuzizza ku baami baabwe, era tebayoya wadde okucakala nabo.

Okunnyikiza ensonga eno, bassaawo enkola gye bayita ‘Girls day out’. Wano beekungaanya ne babaako ekifo ekisanyukirwamu gye bagenda olwo ne balya ssente. Naye abaffe kiki ekireetedde embeera eno okubukala?

ABASAJJA TEBAKYAYAGALA KUSSA SSENTE MU BAKAZI:

Brenda Kyomuhendo, 32 ow’e Kawempe era omusuubuzi mu Kampala agamba nti abasajja ba leero eky’okuteeka mu bakazi ssente naddala ez’okucakala kibatujja okukira ejjute. Ekyewuunyisa bangi bayize omuze gw’okwagala ate omukazi y’aba ateeka mu musajja ssente.

“Bwe mugenda okucakala ayagala ggwe oba okwata mu nsawo okutuusa lwe muvaayo. Kino bw’okikola emirundi egiwera otuuka ekiseera n’olaba ng’omusajja akunyuunyuunta n’osalawo ogendenga wekka.

Mu ngeri endala abasajja beefuula nnyo bbize. Omala emyaka n’ebisiibo ng’omusaba akutwaleko mu mizannyo oba mu kifo ekirala owummuze ku birowoozo olwo n’akuwoleza nga bw’atalina budde.

Bw’olaba akuwanvuya ate ng’olina omuyimbi gw’oyagala n’osalawo okweteekamu ssente yo ey’ekikazi.” Kyomuhendo wabula agamba nti ekizibu oluusi ekiba mu kino, omukazi bw’abeera obw’omu abasajja bamulaba ng’atalina agamba oluusi ekibawa ebbeetu okumusaba omukwano.

Abakazi bangi bayingiziddwa mu bikemo by’obwenzi lwa basajja kubasuulirira. Agamba nti okumalawo embeera eno, abasajja balina okwerekereza ssente ensaamusaamu ne batwalako bakyala baabwe mu bifo nga bino waakiri omulundi gumu mu mwezi.

ABASAJJA BEEGOMBA NNYO: Claire Ntongo ow’e Kawanda agamba nti abasajja tebamatira. “Oyinza okutambulako ne balo nga mugenze okucakala wabula bwe mutuuka eyo n’alaba omukazi anyirira olwo n’atandika okumukuwaanira ng’eno bw’akunafuya. Bw’akusanga nga naawe waya zikuukako mangu gye biggweera nga mulwaniddeyo. Okwewala embeera eno abakazi kye bava batambula bokka.”

EBBUBA LY’ABASAJJA Hajara Nansubuga ow’e Kitebi agamba nti abasajja basussa ebbuba. Agamba nti bwe mubeera mu bifo nga bino tayagala obeeko muntu yenna naddala omusajja gw’oyogera naye. “ Ne bw’aba mulenzi nga wasomako naye bwe mubaako kye munyumya n’okuseka naye olwo ng’azimba era ayinza n’okukuyisaamu empi n’akuttira olunaku. Waliwo mukwano gwange yagenda ne bba mu bbaala awaali bbandi. Omukyala bwe yawaana eddoboozi ly’omusajja eyali ayimba kyanyiiza muganzi we n’amugamba batambulirewo badde awaka!”

BANOONYA BYANFUNA: Badru Ssentamu, 50 ow’e Namasuba era omukozi mu Nabugabo Updeal Venture agamba nti ekisinga okutwala abakazi okucakala bokka kwe kufuna omukisa gw’okwefunira abasajja abalala ababawa ku ssente.

Oyo omukazi gw’olaba atinkiza n’okucakala buli wiikendi manya nti alinayo omusajja gwe yaganza oba anoonyaayo anaamugambako. Ebigendererwa by’okufuna omusajja mu ngeri eno, 80 ku 100 byekuusa ku byanfuna.

Eno y’ensonga lwaki bw’afunayo omusajja n’amala amuteekamu ku ssente okusinga bba z’amuwa, olwo ng’obufumbo bw’abaddemu bufa.

Abakazi bangi abafuna abasajja mu mbeera eno ababagambako babategeeza nga bwe batali bafumbo basobole okubeewangulira. Kino kitegeeza nti omusajja yenna akkiriza mukazi we okutambula yekka amusiibule.

Eno y’ensonga lwaki n’Obusiraamu tebukkiriza mukazi mufumbo kutambula yekka. Mu ngeri endala bukubiriza omukazi omufumbo okutambula waakiri nga yeebikkiridde lwa nsonga nti omukazi kikemo eri abasajja. Omukazi akyayagala obufumbo bwo, ne bw’oba oyagala nnyo

BARBARA Lukyamuzi akwanaganya abayimbi mu Busaabadinkoni bw’e Mityana mu Bulabirizi bw’e Mityana agamba nti emyaka 23 gye yaakamala mu bufumbo bwe baba basazeewo kugendako mu kifo ekisanyukirwamu naddala mu nnaku enkulu bba z’abeerawo bagenda bombi.

Annyonnyola nti ku mulembe guno si kya magezi mukazi mufumbo kutambula yekka naddala mu bifo nga bino ebibeeramu abantu abangi naddala abasajja abatayisa sikaati.

Agamba nti buli mukazi lw’abeera yekka sitaani afuna ebbanga era ekiseera kituuka n’amuwangula Mu myaka 23 sigendakako kucakala nga siri na baze okucakala kyokka balo n’akugaana byenenye.

Ate naawe omusajja akwata ssente n’oziwa omukazi agende yeesanyuseemu nga ggwe toliiko manya nti obufumbo tolina.

OMUKUGU AWABUDDE: Daphine Nakanjakko omukugu mu kubudaabuda abantu agamba nti ekisinga okutwala abakazi mu kucakala bokka kwe kwegobako ekiwuubaalo ekiva ku budde obutono abasajja bwe babawa. Wabula yalabudde nti kyangu okuyigirayo obwenzi singa acakala n’emukwano egirina ekigendererwa ekyo.

 

ABAKYALA LWE BASISINKANA OKUYAMBAGANA Abakyala basaana okuweebwa ebbeetu ne basisinkananga ne bakyala bannaabwe mu bibiina ebibagatta. Ebibiina bino mulimu mwe bakuhhaanira okukola bizinensi, ebya munno mu kabi nga biyamba abali mu bwetaavu, ebigatta mu nzikiriza okugeza ebya Mothers’ Union, ebigatta abakyala ab’enkola Enkatoliki n’ebirala.

Mu bya Bizinensi: Abakyala beekungaanyamu ssente ne baziwa munnaabwe mu bbanga lya wiiki, wiiki ebbiri oba omwezi n’okusingawo nga ssente zino ez’omuzindo z’afuna asobola okuzikolamu ekintu eky’amaanyi okufunamu ssente okweyimirizaawo oba okwekulaakulanya.

Abalala bazikungaanyiza mu kibiina ne bakola emirimu egibakulaakulanyiza awamu.

Ebibiina bya Mothers’ Union; Kino kigatta abakyala Abakristaayo abafumbo okubabudaabuda n’okubakumaakuma okweyimirizaawo n’amaka gaabwe.

Bano bawangana amagezi naddala ku kusoomooza kwe basanga mu bufumbo n’okumanya nti ne bw’oba n’ekikusoomooza toli wekka, waliwo n’abalala abayita mu mbeera yeemu.

Bafuna okubuulirirwa n’okubazzaamu amaanyi. Abakyala abalala bawangaana amagezi ku ngeri gye beekuumira ku mulembe n’engeri y’okukola ebivaamu ensimbi. Waliwo n’abakyala abalala ababeera n’ebibiina ebibayamba nga bali mu buzibu ng’okufiirwa, okulwaza n’ebirala nga bakubudaabuda n’okukudduukirira n’obuyambi.