Omusajja oluzimbye n’andeka mu muzigo !

By Musasi wa Bukedde

ENSANGI zino abasajja bakatula keebissebuka bangi! Abakyala abaguma tebatera kusangika nga Mesach Semakula bwe yayimba naye nze ngumidde embeera yonna embi gye tuyitamu ne baze naye mu kifo ky’okufuna essanyu ndi mu maziga.

Pale 350x210

ENSANGI zino abasajja bakatula keebissebuka bangi! Abakyala abaguma tebatera kusangika nga Mesach Semakula bwe yayimba naye nze ngumidde embeera yonna embi gye tuyitamu ne baze naye mu kifo ky’okufuna essanyu ndi mu maziga.

Nze Jesca Nabwera. Nnina emyaka 30. Tubadde tumaze emyaka munaana mu bufumbo ne baze. Omusajja ono yansanga mbeera bw’omu nga nokukola nkola e Kamwokya n’ankwana.

Nakkiriza n’antwala n’ampasa era tubadde tupangisa. Omwami wange mbadde naye ebbanga ddene ng’azimba naye nga tayagala mmanye naye bwe nakinoonyerezaako ne nkimanya ne nkimugamba olw’ensonyi n’akkiriza.

Natandise okufuna essanyu nga ndowooza nti tuwonye obupangisa naye maama Katonda y’amanyi emitima gy’abantu.

Mu kiseera kino tulina abaana basatu naye omwami wange yatandise obutadda waka buli lw’agenda okukola, kati ziweze wiiki bbiri.

Naye kye nteebereza omusajja ono yandiba nga yawasa kubanga anneekwese nnyo.

Abaana sikyalina kye mbaliisa n’okukola sikyakola simanyi waakutandikira.

Obusente bwe nfunawo mbuggya mu kwoza ngoye ate bwe ngulako emmere n’abaana tebakuta. Kati ntya nti ekiseera kyonna nnannyini nnyumba ayinza okungoba.

Nsaba ebitongole ebirwanirira eddembe ly’abakyala okunziruukirira. Ndi ku ssimu 0758347059.