Eyansaba okugendako mu kyalo ambuzeeko

By Musasi wa Bukedde

ENNAKU zino kizibu okutegeera abasajja kye baagala kuba bw’aba tannafuna ky’ayagala yeegonza n’okukusuubiza eggulu n’ensi.

Kyusa 350x210

ENNAKU zino kizibu okutegeera abasajja kye baagala kuba bw’aba tannafuna ky’ayagala yeegonza n’okukusuubiza eggulu n’ensi.

Kyokka bw’amala okukifuna ng’atandika okubuukabuuka. Nze Jackline Ansasire 36 nga mbeera Kazo mu Central Zooni era gye nali mbeera n’omusajja ono nga twava naye e Bushenyi.

Twayagalanira mu kyalo ne tuzaala n’omwana waffe eyasooka. Waliwo munne eyamufunira omulimu e Kampala kwe kuηηamba tujje ffembi.

Bwe twatuuka e Kampala , twapangisa ennyumba e Kazo. Mu biseera ebyo twali mu mukwano ogweyagaza ng’omwami wange buli kimu akireeta ate mu budde nga tatujuza nga nze nkola gwa kuzaala kuba yali amaze okundaga nti asobola okulabirira abaana be.

Nazaala era ηηenda okusibamu nga ndi mu baana bana. Baze eyali akomawo ng’obudde bukyali yatandika okudda amatumbibudde n’obutaddira ddala.

Lumu nasiba omutima ne mmugambako naye yamboggolera era saddamu kumugambako.

Lumu yajja n’antegeeza nga bwe baali bamugobye ku mulimu era tamanyi kiddako. Wano embeera we yatandikira okwonooneka ne batuuka n’okutugoba mu nnyumba ne tudda mu kabanda ka muliraanwa mwe yali atundira ebikajjo.

Embeera bwe yeeyongera okubeera embi, yansaba agende mu kyalo atandike okulima asobole okufuna ssente ezitulabirira era n’agenda.

Kati myaka ebiri bukya agenda simanyi bimufaako kubanga n’essimu gye yagenda nayo yavaako.

Nagendako mu kyalo okumunoonya nga taliiyo nga ne bazadde be tebamanyi gye yalaga. Kati ndi wano simanyi kiddako kubanga sirina kye ndiisa baana be yandekera nga n’omukulu yatuuka dda okutandika okusoma naye sirina ssente.

Nagezaako okusaba bazadde be ssente kyokka bawoza kimu nti tebalina ssente nti nnoonye baze eyabanzaalamu. Wano we nsabira abasomi ba Bukedde banyambe bampe ku magezi kubanga ensi enfundiridde.