Bazadde ba mukyala wange baagala kumunnemya

By Musasi wa Bukedde

NZE Lawrence Zziwa mbeera Kajjansi. Mukama yansisinkanya Nakibuule ne twagalana okukkakkana nga tuzadde n’abaana babiri.

United 350x210

NZE Lawrence Zziwa mbeera Kajjansi. Mukama yansisinkanya Nakibuule ne twagalana okukkakkana nga tuzadde n’abaana babiri.

Tubadde tutambuza bulungi obufumbo bwaffe naye embeera z’omukyala zaatandika mpola okukyuka n’atuuka n’okuggalira abaana mu nnyumba ekitansanyusanga.

Wabula nnakizuula luvannyuma nti ekyali kikozesa mukyala wange bino lwakuba kitaawe tanjagaliza muwala we ng’agamba nti nsooke nkyale ewaabwe kuba tebammanyi nga mukoddomi waabwe.

Bino bwe nnabiyitiramu mukyala wange, yaηηaamba nti anjagala nnyo naye alina okugoberera ebiragiro bya kitaawe kuba ye muzadde we.

Ekyo twasooka ne tukyesonyiwa ne nsalawo nkwatagane ne maama anzaalira omukyala era ng’omuzadde amubuulirire akyuse mu nneeyisa ye.

Naye nagenda okulaba nga nninga naye amwesibako. Nze ne mukyala wange tukyeyagala naye obuzibu obuliwo taata tayagala mukwano gwaffe kugenda mu maaso n’atuuka n’okutuleetera tukole endagaano twawule abaana baffe.

Nsobeddwa eky’okukola era nsaba abantu batuwe ku magezi ku mbeera eno.