Ensundo ziva ku ki?

By Musasi wa Bukedde

NNINA myaka 17 naye ndi mutono mu sayizi naye ndye ki okusobola okugejja?

Newsengalogob 350x210

NNINA myaka 17 naye ndi mutono mu sayizi naye ndye ki okusobola okugejja? Ekirala sigenda ddakiika ziwera kkumi, nkole ntya?

Mwana wange ku myaka gy’olina nsuubira nti okyakula. Kubanga omuvubuka akoma okukula nga waakiri awezezza emyaka 19.

N’ekirala newankubadde ogamba nti sayizi yo ntono, oluusi abavubuka balaba bubi kubanga sayizi entuufu yeeyo ng’ofunye obwagazi. Naye ate ntidde olina emyaka mito nnyo okutandika okwegatta.

Ku bwagazi bw’olina obw’obutonde ku myaka egyo era olina kumala mangu.

Kambuuze lwaki weegatta ku myaka gy’olina? Tosoma oba osoma naye nga wasalawo okwegatta.

Ssinga ofunyisa omuwala olubuto ddala olina obusobozi okulabirira omwana oyo?

N’ekirala ggwe totya bulwadde oba okozesa kondomu? Mwana wange nze ndaba okyali muto okutandika okwegatta era tekyewuunyisa kufuna mbeera ey’okumala amangu.