Owewange yaganza muto wange n’amuzaalira abalongo

By Musasi wa Bukedde

Obuzibu bwatandika mpola mpola okuva bwe nafuna omulimu gw’obwa ddereeva mu kkampuni emu etambuza Abangereza abajja mu Uganda okulambula ne ntandika okumala wiiki nga siri waka.

James1 350x210

NZE James Kato, nnina emyaka 33 mbeeera Munyonyo. Twayagalana ne mukyala wange nga yazaalako omwana omu ne tukola amaka gaffe agasangibwa e Kawempe.

Mukyala wange yali akola mu wooteeri nga bizinensi ye etambula bulungi.

Entandikwa y’obufumbo bwaffe yali nnungi kubanga mukyala wange yaηηamba amazima nti yali yazaalako omwana omu ne mmwagala n’omwana waffe era ng’omukwano gwe twalina gwali mungi kubanga nze nnali namutuuma lya sswiiti.

Obuzibu bwatandika mpola mpola okuva bwe nafuna omulimu gw’obwa ddereeva mu kkampuni emu etambuza Abangereza abajja mu Uganda okulambula ne ntandika okumala wiiki nga siri waka.

Mukyala wange yali yammanyiiza okumbeera okumpi buli kadde kyokka bwe nagendanga mu safaali ng’emirimu ginkwata oluusi nga bw’ankubira essimu sikwata kubanga mbeera nvuga naye buli lwe nafunanga akadde nga mukubira ne twogera.

Munannge yatandika mpola okukyuka nga bwe nkomawo awaka ku Ssande ne mukwatako ng’agaana ekintu ekyannuma naye nga nsirika kubanga kino yakikolera emyezi esatu.

Lumu yankubira essimu n’aηηamba nti yali ansubwa era anneesunga. Olw’okuba nnali mwagala nnyo nakomawo awaka era ne twesanyusa.

Waayita wiiki bbiri n’aηηamba nti ali lubuto ekintu ekyansanyusa era ne ntandikirawo okukola ‘sooping’ y’omwana.

Munnange bwe yatuusa okuzaala, yakubawo balongo wabula nga tebalina kye banfaananako, wabula nga balina engeri gye bafaananamu muto wange.

Eηηambo zaatandika okuyiti- ηηana nti abaana bandiba aba muto wange ekyampaliriza okubatwala ku ndaga butonde, era ebyavaamu byayongera okukakasa nti abaana si bange.

Omukazi namugobye era ne nnyiigira ne muto wange wabula sinnamwatulira. Nasazeewo n’okukyusa essimu okulaba nga siddamu kubawuliza.

Ekisinga okunnuma kwe kuba nti omukazi namuteekamu ssente zange nnyingi naye saamufunyeemu mwana n’omu ate nga mbadde ndabirira owuwe n’ekirala mu basajja bonna lwaki yasazeewo kuganza muto wange?