Abantu abasinga okudaaga n’omukwano

By Musasi wa Bukedde

Newankubadde buli muntu ali mu mukwano ateekwa okuba nga yali afunyeeko okusoomoozebwa kyokka ebika by’abantu bano wammanga be bakyasinze okukaaba ennaku y’omukwano.

Thoughts1 350x210

MUGANDA wange nkuubulire.., simanyi oba naawe oli mufumbo naye njagala ompe ku magezi.

Nnina omukazi anfuukidde ekizibu ayagala kunzisa. Saalina kirowoozo kimukwana wabula yansendasenda ne mwagala kuba namuvuganga buli lunaku.

Yankakasa nti talina musajja kyokka lumu mba ndi ku siteegi omusajja n’ajja.

Namuvuga nga kasitoma, bwe twatuuka awantu yanzigyirayo emmundu ekika kya baasitoola n’aηηamba ‘muvubuka bw’otoove ku mukazi wange nja kukutta…’.

Kyokka omukazi aηηamba ali lubuto ate mbu tayagala kuluggyamu era mbu ayagala kunobayo ewa bba ajje tubeere ffembi..; Bwatyo owa bodaboda gwe nnalinnye okuva ku siteegi emu mu Kampala bwe yampitiddemu ebizibu by’omukwano.

Kyokka mu nnaku bbiri emabega, aba bodaboda abantwalako era emboozi ze baali banyumya zaali za bakyala ne baganzi baabwe.

Embeera y’okulojja ennaku y’omukwano eri mu biti by’abantu ebiwera.

Newankubadde buli muntu ali mu mukwano ateekwa okuba nga yali afunyeeko okusoomoozebwa kyokka ebika by’abantu bano wammanga be bakyasinze okukaaba ennaku y’omukwano.

1 Aba bodaboda; Bano bakwata kisooka olw’okuba nti baganza nnyo. Ekibaleetera okuganza ennyo gwe mulimu gwe bakola kubanga abakyala batambulira nnyo ku pikipiki.

Mu mbeera eno bafuna mangu okukwatagana ne bakasitoma baabwe abakyala kubanga oluusi n’ennamba z’amasimu abakazi bazibagabira okwanguyirwa okubafuna nga beetaaga okubatambuzaako ekireetera enkolagana okwanguwa okukula n’ekivaamu kwagalana.

Embeera eno ebaleetera okuganza abakazi abawerako era kino oluusi kibaleetera obuzibu ng’okuganza bak’abasajja n’abawala b’essomero ne babafunyisa embuto ze bateetegekedde. Oluusi ekiva mu bino ge maziga gennyini nga banoonya engeri gye bakomya omukwano ogw’ekika kino.

2.Abaweereza emmere mu buwooteeri obutono; Abakazi abaakazibwako baddereeva b’emmere ng’okusinga bakolera mu bifo by’obutale nabo bakaaba nnyo ennaku y’omukwano.

Bano baganzibwa nnyo olw’okuba baba nnyo mu bwetaavu bw’ensimbi kubanga omulimu guno gusasula kitono ate nga balina ebyetaago bingi.

Oluusi basendebwa mangu abasajja nga babasuubiramu bingi. Abasajja ab’obuvunaanyizibwa okugeza abakola mu ofi isi ennene baganza abawala bano oluusi ne batuuka n’okubafunyisa embuto.

Embeera bw’etuuka wano nga bakitegeddeko olwo nga bababulako nga n’amasimu tebakyakwata olw’okuba babalaba nga aba wansi be batasobola kulaga mu mikwano gyabwe.

Omukazi ono bw’amala okuzaala embeera ng’ekalubye olwo nga baddukira ku poliisi kwekubira nduulu, era eno gye basinga okulojjera ennaku y’omukwano.

3.Abawandiisi ab’ekyama mu ofiisi z’abagagga oba abakungu; Abawala abakola ogw’obuwandiisi oba abayambi mu ofi isi z’abagagga bakaaba nnyo ennaku y’omukwano kubanga abagagga n’abanene bangi abaganza abawala bano, era kiba kizibu omuwala okugaana okuganza mukamawe, kuba baba n’ebirooto bingi.

Ekizibu nti abakulu bo omukwano gw’ekika kino bagutwala nga gwa kisaazisaazi, n’okweggyako ekyoyooyo ky’okwegatta buli we baagalidde anti ne mu ofi isi baba basobola okwesanyusa.

Ekisinga okukaabya abawala ab’ekika kino kwe kuba ng’ate oluusi omunene bw’abaako n’abakazi abalala b’aganza, ate batuukira ku muwala ono, olwo ne kimuluma naye nga talina kya kukola.

4 Abawala abaweereza mu makanisa naddala ag’abalokole; Bano nabo oluusi bakaaba olw’omukwano kuba engeri gye baba abawala abato, abasumba oluusi babaganza ng’ate oluusi kiva ku mbeera bo bennyini gye bassaawo ey’okulaga omusumba nti bamwetaaga.

Wabula oluusi omusumba bw’abaako ne by’alidde olwo ng’omukwano gukoma awo ate ng’abakana na mulala, ekireka oli eyasooka ng’amumemye omutima.

5 Baddereeva ba takisi; Olw’okuba bano bakolera mu bantu bangi baganza nnyo abakazi.

Mu kuganza kuno mwe bafunira abakazi oluusi ababaviiramu ebizibu okugeza abawala abato batera okubaviiramu okukwatibwa ne baggalirwa.

6 Bayaaya; Abasajja bangi baganza bayaaya ate nga tebalina nteekateeka ya kugenda wala mu mukwano nabo.

Bakikola kwemalako kyoyooyo era obuzibu we butera okuva nga bakama ba bayaaya abakyala bakitegeddeko.

Bano nabo bangi abaddukira ku poliisi okufuna okuyambibwa naddala nga bafunye embuto za bakama baabwe ate ne babagoba ku mirimu.